Kkooti egobye okujulira kwa boodi y’ekibiina ekigatta abatereka ssente ez’obukadde

Apr 28, 2025

KKOOTI ejulirwamu yeegasse ku kkooti enkulu n’egoba okujulira kwa bammemba ba boodi y’ekittavvu ky’abakadde ekya Uganda Retirement Benefits Regulatory Authority (URBRA) abaali baagala okugoba akikulira.

NewVision Reporter
@NewVision

KKOOTI ejulirwamu yeegasse ku kkooti enkulu n’egoba okujulira kwa bammemba ba boodi y’ekittavvu ky’abakadde ekya Uganda Retirement Benefits Regulatory Authority (URBRA) abaali baagala okugoba akikulira.

Mu nsala ey’omulamuzi wa kkooti ejulirwamu, Christopher Gashirabake, gye yawadde ku Lwokutaano nga April 25, 2025, yakkiriziganyizza n’ensala y’Omulamuzi Musa Sekaana gye yawa nga May 8, 2024 bwe yasingisa bboodi y’ekitongole kino ekya (URBRA) olw’okugaana okuzza obuggya endagaano y’akulira ekitongoloe ekyo Martin Anthony Nsubuga.

Bino okubaawo kiddiridde boodi ya URBRA okugaana okuzza obuggya endagaano ya Nsubuga eyaggwaako nga May, 14, 2024, wadde nga yali amaze ebbanga ng’abasaba bagizze obuggya. Etteeka eryassaawo ekitongole kino likkiriza nti kontulakiti y’akikulira okuzzibwa obuggya okumala ekisanja ekirala kya myaka 5.

Nsubuga ensonga yazitwala ewa minisita, wabula teyafuna kuyambibwa kwetaagisa ate olwo aba boodi ne bamuwandiikira nga bamutegeeza bwe batagenda kuzza buggya kontulakiti ye, kwe kuwaaba mu kkooti enkulu.
 
Omusango gwawulirwa omulamuzi Musa Ssekaana eyasala nti boodi yali ekola kikyamu obutazza buggya kontulakiti ya Nsubuga. Omulamuzi era yakuba ebituli mu bammemba ba boodi n’agamba nti tebalina bumanyirivu ku kitongole kino.

Aba bboodi tebaamatira na nsala y’omulamuzi Ssekaana, kwe kwekubira enduulu mu kkooti ejulirwamu wabula n’omulamuzi Gashirabake yasazeewo Nsubuga adde mu ofiisi, ate abakungu ba boodi bagobwe olw’obutba na bukugu bwetaagisa.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});