Waliwo omwana atawena eyabuzaawo Kitaawe nga muzibe nga wa myaka 90 n’oluvannyuma n’atunda enju mw'abadde abeera ne bagikoona ku ttaka
Muzeeyi Fracnis Kabanda ow’emyaka 90 omutuuze w’e Kitukutwe mu munisipaali y’e Kira yagambye nti ku kyalo Kitukutwe yasengukirawo mu mwaka gwa 2005 era n’afuna ekyapa.

Mzee mu kazigo mw'awangaalira mwe yadda.
Yagambye nti muwala we Stella Namawejje ne mukulu we Bukirwa baamutwalako ekyapa kye ku mpaka era nga bagezaako okugenda mu ofiisi etwala ekyalo naye teyafuna kuyambibwa kwonna.
Ategeezezza nti muwala we Namawejje yakozesa olukujjukuju n’akyusa ekyapa kye n’oluvannyuma n’atunda ettaka kw’abadde awangaalira kyokka nga tamuwangako lukusa lwonna kukyusa kyapa kye .
Annyonnyola nti mutwo we Steven Mawejje ne muwala we Namawejje, beefuula abaagala okumutwala ajjanjabwe amaaso mu ddwaliro erimu naye kye yakkiriliza kyokka nga tamanyi nti kaali kakodyo kaakumubuzaawo basaanyeewo amaka ge.

Mzee Ne Mukyala We
Bino bibadde ku kyalo Kitukutwe mu diviizoni y’e Kira mu munisipaali eyo. Wakati mu kukulukusa amaziga avumiridde ekikolwa ky’okumenya enju ye ne batwala n’ebyalimu byonna n’abitwala n’ategeeza nga ye bw’atalina muntu yenna gwe yawa kyapa kye akikyuse.
Mzee agamba nti alina abaana 7 era nga talina nsonga lwaki aba ateesa n’abaana musanvu nga tayinza kukola kusalawo kwonna ng’abalala tebamanyi.
Akolimidde omwana ono n’asaba ab’obuyinza okumuyamba kubanga embeera gy’alimu mbi ddala nga tamanyi na kyakuzzaako ku myaka gye.
Pauline Nazziwa, mukyala wa Kabanda Francis mu maziga asabye abo bonna be kikwatako okuvaayo babadduukirire era n’atulambuza n’enju gye baagabana n’omupangisa mwe basula.
Namawejje gwe balumiriza bw’atuukiriddwa ku lukomo lw’essimu ategeezezza nti byonna ebyakolebwa Kitaawe abimanyiiko n’ategeeza nga bw’alina Puleesa era akyali mu ddwaliro.
Mukasa Fred Ssentebe w’ekyalo Kitukutwe bwatuukilidwa okubaako byatangaaza ku bimwogeddwako nti yeezibika ssente obukadde 2 n’emitwalo 40 n’avuvuba omusango, atiisatiisizza okusiba omusasi waffe ssinga eggulire lino lifuluma.