Amawulire

MUSEVENI: Alagidde abaserikale bakomye mbagirawo okugumbululanga abantu n’embookoMinisita

PULEZIDENTI Yoweri Museveni aweze ekikolwa ky’abaserikale okukuba abantu emiggo nga babagumbulula, n’agamba nti enkola eno takkiriziganya nayo n’alagira bagikomye bunnambiro.

Pulezidenti Museveni ng’ayogera eri eggwanga.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

PULEZIDENTI Yoweri Museveni aweze ekikolwa ky’abaserikale okukuba abantu emiggo nga babagumbulula, n’agamba nti enkola eno takkiriziganya nayo n’alagira bagikomye bunnambiro.
Ekiragiro kino Museveni yakiwadde mu bubaka bwe obw’okumalako omwaka bwe yawadde nga December 31, 2025.
Museveni yagambye nti enkola y’okukuba abantu si ntuufu ng’awakanya n’abasomesa abagikozesa okugunjula abayizi. Yalagidde poliisi okukozesa omukka ogubalagala kubanga gwo tegutta bantu, ng’amasasi bwe gakola, kyokka balina okugoberera emitendera nga tebannakuba mukka guno mu bantu.
Abaserikale balina kusooka kukwata mizindaalo ne balabula abantu okuvaawo ate ne babawa obudde ne bavaawo olwo ne balyoka batandika okukuba omukka ogubalagala.
Ekiragiro kino Museveni w’akiweeredde nga Bannayuganda bangi bavuddeyo ne bavumirira abaserikale n’abajaasi ba UPDF abakuba abantu emiggo nga bwe kyali e Gulu, Kyagulanyi bwe yali agenzeeyo okukuba kampeyini.
Museveni era yalabudde pulezidenti wa NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu, n’abazungu, be yalumirizza okumuyambako okutabangula Uganda, obutakigeza kubanga buli anaakikola waakukolwako n’amaanyi.
Yagambye nti Kyagulanyi amenye amateeka n’asukka, omuli okukozesa obubi amakubo ng’agenda okunoonya obululu, okutambula n’abawagizi abayitirivu alowoozese ensi nti alina obuwagizi, n’ebirala.
Yawadde ekyokulabirako nti e Mbarara abantu be baabuulira Poliisi nti baalina mmotoka 200 ezaali zibatambuza okubatwala ku nkung’aana za Kyagulanyi.
Yabalabudde nti Pulojekiti zaabwe tezijja kuvaamu nga bwe baagala kubanga Uganda nsi ya bajulizi, omuli ab’omwoyo nga Kalooli Lwanga ne banne, n’abeebyobufuzi nga Luttamaguzi, era ye nsonga lwaki bangi bavaayo ne babuulira abeebyokwerinda ku pulaani zino, ne basobola okuzisaanyaawo.
Yajjukizza Bannayuganda kampeyini ya “Tajja Kulayira”, n’okwekalakaasa kw’abavubuka okwali kutegekeddwa omwaka guno.
Yalabudde ab’oludda oluvuganya okukomya okutiisatiisa abantu abaagala okugenda okulonda, n’akoowoola abantu bonna okugenda okulonda, kubanga ebyokwerinda biri gguluggulu, era omwaka guno ogutandise Uganda egenda kutandika okusima amafuta gaayo nti noolwekyo kino ekiseera si kya kuzannyazannya.
EBYENFUNA
Ku byenfuna, Museveni yagambye nti Uganda ekulira ku misinde gya yiriyiri, Bannayuganda basanyufu, emirembe weegiri, n’amagye gaffe ga maanyi ddala.
Ebyamaguzi Uganda by’etunda ebweru omuli emmwaanyi, amatooke, amata, ennyama, n’ebirala bingi, byeyongedde obungi era kati ssente ze tufuna mu bintu bye tutunda ebweru nnyingi bw’ogeraageranya ne ze tugulamu ebyamaguzi ebiva ebweru. Mu kiseera kino Uganda eyingiza obuwumbi bwa doola 13 n’obukadde 400 okuva mu bitundibwa ebweru, ate n’esasaanya obuwumbi bwa doola 11 n’obukadde 300 ku byamaguzi ebiva ebweru.
Wadde ebyenfuna bikuze nga wakyaliwo abantu abaavu, abavubuka abasomye nga tebalina mirimu, enguudo embi, n’ebirala, Museveni yawadde essuubi nti bigenda kukolwako.
Yalaze n’ebizibu ebirala ebikyatawaanya abantu omuli obwavu, ebyenjigiriza n’ebyobulamu, bye yagambye nti NRM ezze erwana okubitereeza kyokka ekizibu waliwo abantu abatawuliriza, ekibalemezza emabega.
“Pulojekiti nnyingi ezikoleddwa okulwanyisa obwavu n’okuyamba abaana okusoma, omuli enkola ya bonnabasome mu siniya ne Pulayimale, Bonna bagaggawale, Entandikwa, Emyooga, Ssente z’abavubuka, ez’abakazi, ne pulojekiti endala nnyingi. Abazeeyambisizza bangi bavudde mu bwavu ne basobola okukola ku bizibu ebyali bibanyiga,” bwe yategeezezza.
Yawadde ekyokulabirako eky’abantu nga Rashidah Namubiru, omutuuze w’e Kasaka mu Butambala, eyafuna ssente z’oku miruka eza PDM n’atandika okulunda embuzi, ng’eyatandika n’embuzi ssatu kati alina 10, ate afunamu n’ebigimusa okuva mu busa bwazo, ebimuyamba mu mmwaanyi n’olusuku.
Ekizibu ky’amasomero ga gavumenti agasaba abazadde ffiizi ne kiremesa abaana abamu okusoma, yagambye nti bagenda kukinogera eddagala, okuyita mu kuwandiika abasomesa abalala, buli ssomero libeere n’abasomesa abamala, waveewo ekyekwaso nti ssente bazisaba kusobola kusasula basomesa abatali ku gavumenti.