MU kaweefube wa Gavumenti ow’okwongera ku bungi bw’emmwaanyi ezigenda ku katale k’ensi yonna, ekitundu kya Buganda kiteereddwaako amaanyi okuyita mu nteekateeka ez’enjawulo ezivuddemu ebibala.
Kaweefube ono aleetedde ekitundu kya Buganda okubeera nga ky’ekisinga okulima emmwaanyi mu Uganda, ng’ebitundu 40 ku 100 eby’emmwaanyi ezigenda ku katale k’ensi yonna, biva mu Buganda yokka.
Mu kutumbula okulima emmwaanyi mu Buganda, Gavumenti yakwatagana n’Obwakabaka bwa Buganda mu nteekateeka ya ‘Mmwaanyi Terimba’ okwongera ggiya mu kaweefube w’okuggya abantu mu bwavu okuyita mu kulima emmwaanyi.
Pulezidenti Museveni wiiki ewedde bwe yabadde e Butambala yalaze essanyu olw’abantu mu kitundu kya Buganda okuzuukuka ne beenyigira mu kulima emmwaanyi, n’agamba nti, bw’abadde atalaaga ebitundu okuli; Bukomansimbi, Kalungu, Masaka, Kyotera, Rakai, Lyantonde, Lwengo, Ssembabule, Butambala n’e Mpigi alabye ennimiro z’emmwaanyi ez’amaanyi ate nga zirabika bulungi ekiraga nti, abantu abasinga bawuliriza omulanga gwe bulungi.
ENKWATAGANA N’OBWAKABAKA BWA BUGANDA
Museveni yagambye nti, omulanga guno ogw’okulima emmwaanyi abadde ayambibwako gavumenti y’e Mengo, ebadde ekunga abantu okulima emmwaanyi era nga endokwa ezigabibwa mu nteekateeka y’emmwaanyi terimba, ziva mu Operation Wealth Creation ekulirwa Gen. Salim Saleh.
EMMWAANYI TERIMBA ESITUDDE EBYENFUNA
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga agamba nti, ‘Emmwaanyi Terimba’ eyambye nnyo okusitula ebyenfuna mu maka g’abantu ba Buganda, era azze akubiriza abantu ba Buganda okwongera okulima emmwaanyi kubanga tekikoma kuba kirime wabula ly’ekkubo erigenda okutuusa abantu ba Kabaka mu kwefuga mu byenfuna.
Mu June wa 2024, ku mwoleso gw’ebyobulimi ogwali e Bulemeezi, akulira ebyensimbi mu maka g’Obwapulezidenti, Jane Barekye yawaayo obukadde 413 okuva ewa Pulezidenti Museveni, zongere okuyamba Obwakabaka okutumbula ekirime ky’emmwaanyi. Mu kaweefube ow’okwongera okukoleeza oluyiira lw’okulima emmwaanyi, Mayiga azze akyala mu Masaza ga Buganda ag’enjawulo, ng’asisinkana abalimi b’emmwaanyi abaaweebwa endokwa okuyita mu Mmwaanyi Terimba ne bazirabirira bulungi ne batandika okuzifunamu. Mu kukyala kuno mw’ayita okuzzaamu abantu ba Buganda amaanyi, n’okusaasaanya amagezi abalimi ab’enjawulo ge bakozesa, eri abantu ba Buganda abalala, okuyita ku mikutu gy’amawulire
ENTEEKATEEKA Z’OKULWANYISA OBWAVU
Gavumenti ng’eyita mu nteekateeka z’okulwanyisa obwavu omuli ‘Bonna bagaggawale’, (Operation Wealth Creation), ne ssente z’oku miruka eza PDM, eyongedde okuwagira enteekateeka z’okulima emmwaanyi.
Okusinziira ku bibalo by’enteekateeka ya Operation Wealth Creation, ku mukutu gwayo ogwa X, wakati wa 2013 ne 2023, UPDF yagaba endokwa z’emmwaanyi ez’omulembe obukadde 850 okwetooloola eggwanga, nga n’ekitundu kya Buganda mw’okitwalidde.
Kuno kw’ossa ekitongole ky’emmwaanyi ekya UCDA, kati ekyagattibwaku minisitule y’ebyobulimi, ekyagaba endokwa eziri eyo mu bukadde eri abalimi mu disitulikiti za Buganda eziwerako okuli Luweero, Mukono, Kayunga, Buikwe, Mpigi, Masaka, Mubende n’endala.
Era gavumenti ng’eyita mu UCDA, esomesezza abantu mu Buganda n’ebitundu by’eggwanga ebirala okunoga emmwaanyi ezengedde zokka, obutazaanika mu ttaka, n’ebirala ebiyambye okusitula omutindo gw’emmwaanyi, Uganda ne yeeyongera okuvuganya ku katale k’ensi yonna.
Olw’okwemulugunya okwava mu bantu ku ngeri endokwa gye zaali zigabibwamu, Pulezidenti Museveni yasalawo ssente okuziwa abalimi obutereevu okuyita mu PDM, beegulire endokwa ezaabwe, ate zibayambe n’okugula ebigimusa by’emmwaanyi, bongere okufunamu.
Gavumenti era egabidde abantu ebyuma by’emmwaanyi okubasobozesa okuzongerako omutindo, era Pulezidenti Museveni bwe yabadde e Masaka ku kisaawe kya Liberation Square gye yakubye olukung’aana ng’awenja akalulu, yagambye nti yaakawa Bannamasaka ebyuma by’emmwaanyi 10, okugatta omutindo ku mmwaanyi.
Okusinziira ku minisitule y’ebyobulimi, wakati wa November 2024 ne October 2025, Uganda etunze ensawo z’emmwaanyi eza kkiro 60 eziwera obukadde munaana n’emitwalo 40 era n’eyingiza obuwumbi 8,200.