KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II, asabye Obuganda okukulembeza obumu n’okwegatta mu mwaka guno omuggya. Mu kwegatta kuno, Kabaka yagambye nti mwokka mwe muli obuwanguzi era yabakubirizza okusigala nga bavumu mu buli kya bakola.
Okwogera bino, yasinzidde mu Lubiri e Mmengo ku Lwokusatu ku ntujjo y’Obwakabaka emalako omwaka n’okuyingira omuggya eya Enkuuka n’agamba nti wadde embeera ya kazigizigi, basaanye obutaggwaamu ssuubi kubanga essaawa yonna ejja kukyuka.
Mu Lubiri, Kabaka yayaniriziddwa Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga era n’agenda ng’awuubira ku bantu be ne bafa essanyu.
“Tuddamu okubakubiriza okusigala nga muli bavumu mu buli mbeera yonna n’okujjukira nti okwegatta bwe buwanguzi. Temuggwaamu ssuubi kuba kazigizigi gwe tulina kati ajja kukyuka kasita musigala ku mulamwa,” Kabaka bwe yagambye.
Kabaka era yasinzidde mu bubaka bwe buno n’alagira abantu be okukuuma empisa, ennono, obukulembeze mu Bika n’olulimi Oluganda kubanga bino bye byasinga okwewuunyisa Omuzungu eyajja mu Buganda n’asanga nga byonna birambike bulungi.
“Omuzungu bwe yali ajja mu Buganda, yatendereza nnyo empisa n’ennono zaffe n’obukulembeze bw’Ebika era n’olulimi byonna nga biraga obugunjufu. Bino tulina okwongera okubikuuma n’okubisomesa abaana kuba bye bizimba obumu n’obugunjufu,” Kabaka bwe yalambise.
Kabaka eyabadde ne Nnaabagereka Sylivia Nagginda ku lusegere, yeebazizza abantu olw’omukwano, okwagala n’obuwulize eri byonna ebikolebwa mu Bwakabaka era n’abaagaliza 2026 ogujjudde emirembe n’essanyu.
Omumbejja Katrina Ssangalyambogo, Omulangira Richard Ssemakookiro baabaddeyo era nabo baacamudde abantu.
Mayiga yabuulidde Kabaka ng’omwaka guno bwe bagenda okutalaaga Obwakabaka okukunga abantu be okujjumbira enteekateeka ez’enkulaakulana okweggya mu bwavu okuli okulima emmwaanyi