EKISAAKAATE kya Nnaabagereka eky’omulundi ogwa 19 kitandise olunaku lwa leero nga kibumbujjira ku Hormisdallen P/S e Gayaza mu ssaza ly’e Kyadondo.
Minisita Nakate Kikomeko ng'ayogera
Bwabadde asimbula abaana bano ku mbuga y’Obwakabaka e Bulange- Mmengo emisana ga leero, Minisita w’enkulakulana y’abantu ba Buganda era avunanyizibwa ku ofiisi ya Nnaabagereka, Coltilda Nakate Kikomeko n’ategeeza ng’abaana bwebagenda okufuna obutendeke mu bintu bingi okuli okwesalirawo mu bulamu n’okuyimirira ku nsonga.
" Twagala okufuna abaana nga bamalirivu mu byonna byebakola. Kintu kikulu nnyo kubanga ensi gyetutambuliramu yetaaga okuba ng'otendekeddwa bulungi mu buntubulamu n'omanya okwesalirawo okutuufu n'oba nga toyuugayuuga naddala mu myaka egyo emito gyebalimu," Nakate bwagambye.

Abato nga basimbye layini
Minisita Nakate yeebazizza Nnaabagereka olwa kaweefube w'okukuliza eggwanga lino abaana abatendekeddwa obulungi mu mbeera y'ensi.
Ekisaakaate kino kitambulidde wansi w’omulamwa ogugamba nti “ Ensibuko y’Obumalirivu: Okweyamba obuntubulamu mu kutebenkeza obwongo” nga kitegenda kukomekkerezebwa nga January 10,2026.
Kalungi Kabuye avunanyizibwa ku nkolagana ya National Drug Authority n’ebitongole ebirala nga bebamu ku bavujjirira Ekisaakaate kino agambye nti ekyabakwataganya n’Ekisaakaate kino kwe kulaba ng’eggwanga lifuna abaana abatakoseddwa bulabe bwa biragalalagala n’asaba nti wadde bagenda kusomesa abaana ebintu bino naye bwebadda awaka, abazadde basaanye okugenda mu maaso n’okubalondoola, baleme kubyenyigiramu.

Minisita Nakate bwabadde asimbula Ekisaakaate
Ssabagunjuzi w’Ekisaakaate, Dr. Rashid Lukwago agambye nti guno mukisa munene buli muzadde gwatalina kusumbwa okuleeta abaana be babangulwe mu bintu bingi ebitambuza obulamu bwaabwe.
Aba Homisdallen balaze essanyu olw’okuweebwa omukisa guno okuddamu okukyaza Abasaakaate nga baasembye okubeera nabo mu 2024.
Ekisaakaate kikolebwa mu biti bisatu nga waliwo ekitandika omwaka kyebayita ekya Gatonya, waliwo ekiseera wakati w'Omwaka nga kyetabibwamu abayizi okuva mu masomero agali ku mutendera gw'ensi yonna ate n'ekirala ekitegekebwa mu Masaza.