Amawulire

Agambibwa okwonoona erinnya lya Musumba Lubega ali ku limanda

OMUSOMESA agambibwa okukozesa omukutu gwe ogwa ‘You Tube’ okwonoona erinnya ly’Omusumba Grace Lubega Matovu owa Phaneroo Ministries International avunaaniddwa n’asindikibwa ku limanda.

Mugerwa
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

OMUSOMESA agambibwa okukozesa omukutu gwe ogwa ‘You Tube’ okwonoona erinnya ly’Omusumba Grace Lubega Matovu owa Phaneroo Ministries International avunaaniddwa n’asindikibwa ku limanda.
Jamil Trafford Mugerwa 35, omutuuze w’e Wanyange Central Mafubira Northern Division Jinja City, ye yasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ento e Nakawa, Jonathan Tiyo n’amusomera emisango okuli; ogw’okutambuza amawulire ag’obukyayi, n’okwonoona erinnya ly’Omusumba Grace Lubega Matovu n’ekkanisa ye eya Phaneroo Ministries International. Emisango gyonna Mugerwa yagyegaanyi. Omuwaabi wa gavumenti, Mahatma Odongo yategeezezza kkooti nga bwe batannamaliriza unoonyereza n’asaba babongereyo obudde era n’asaba kkooti esindike Mugerwa ku limanda.
Omulamuzi Tiyo yagambye Mugerwa nga bw’alina eddembe okweyimirirwa, wabula Mugerwa n’amugamba ng’abantu be bwe bataliiwo ku kkooti nga yabadde abalese ku poliisi gye baabadde bamusibidde. Yamusindise ku limanda okutuusa January 19, 2026.
Kigambibwa nti, Mugerwa n’abalala wakati wa 2023 ne November 025 mu bitundu by’e Nakawa mu Kampala n’e Jinja yawandiika era n’atambuza obubaka nga yeeyambisa omukutu gwa ‘You Tube’ ogwa “There is Still Hope” okwonoona n’okuleetawo
obukyayi ku Musumba Lubega n’ekkanisa ya Phaneroo ministries International nti beenyigira mu bya sitaani.