ABASUUBUZI abakolera mu butale bajaganya, omuyambi wa pulezidenti, Moses Byaruhanga bw’abakakasizza nti buli kimu kiwedde bagenda kutandika okufuna obubaka bwa ssente za ‘Katale Looni’ ku ssimu zaabwe.
Yabawabudde nti buli omu asaana aweebwe ssente ezitasukka kakadde kamu (1,000,000/-)
nti bw’azizzaayo nga bamwongera ssente endala. Yabagambye nti bagenda kutandika
n’abakolera mu katale ka St. Balikuddembe, Kaleerwe n’awalala abaasooka okuwandiikibwa nga bawera 8,400.
Olukiiko olwabadde olw’ebbugumu, lwatudde ku ssomero lya Nakivubo Blue P/S nga lwetabiddwaamu omubaka wa Pulezidenti mu Kampala, Lule Mawiya n’abamyuka be, Shafi q Nsubuga ne Geoffrey Sserwadda n’abakungu okuva mu maka ga Pulezidenti.m Abasuubuzi baasoose kwanjulira Byaruhanga ebibanyigaomwabadde okubakandaaliza ennyo nga tebabawa ssente ne bamusaba abagambire ku kitongole kya Micro Finance
Support Centre babawe ssente butereevu ku masimu gaabwe.
Byaruhanga yabanjulidde akwanaganya entegeka ya Katale Looni, Faridah Kimuli ow’e Nakasero gwe yayogeddeko ng’amanyi obulungi eby’obutale era Pulezidenti Museveni amwesiga okutambuza obulungi entegeka eyo.
Byaruhanga yabalaze nti Pulezidenti yasooka kumutuma ne batambula nga bawandiika abakyala bonna abatunda ebintu ku makubo ne babawa buli omu ssente 100,000/- bongere mu mirimu gyabwe ate n’amutuma ku Kaleerwe ne bakuba koolansi wansi mu katale abantu bakolere mu kifo ekirungi.
Yabagambye nti abaagala nnyo kubanga bonna mu St. Balikuddembe tebakyasasula wadde ennusu ate abadde abawa ssente okutandikira ku Myooga, PDM nga kati agenda kubawa eza Katale Looni ze yayogeddeko nti nazo zigenda kubasitula kyokka bakimanye nti bateekwa okuzizzaayo n’amagoba ga bitundu 8 ku buli 100. Omubaka wa Pulezidenti, Lule Mawiya n’abamyuka be, Shafi q Nsubuga ne Faridah Kimulibaagambye abasuubuzi nti ssente bagenda kuzifuna amangu ddala nga batereezezza ebiwandiiko kuba bingi baabimaliriza