Aduumira poliisi y'ebidduka ayimirizza basajja be okukuba baddereeva ebipapula ku misango gy'amateeka amapya
Jun 01, 2025
Yagambye nti baakusooka okusomesa abagoba bamanye kye kitegeeza okuzza omusango guno, omuli okuvuga sipiidi ezisusse 30 kwezo ezirina okuvugira mu kitundu ekyo ne bakuwa ekibonerezo kya mitwalo 60 okusinziira ku luguudo kw’ovugira.
By Joseph Mutebi
Journalist @New Vision
ADUUMIRA poliisi y’ebidduka mu ggwanga AIGP Lawrence Niwabiine alagidde basajja be okuyimiriza okukuba abagoba b’ebiduuka bonna ebipapula ku misango gy’amateeka amapya okutuusa nga bamaze okubasomesa.
Niwabiine Ng'annyonnyola.
“Wadde okusomesa abagoba b’ebidduka amateeka amapya mulimu gwa minisitule y’ebyentambula naye nsazeewo ffe nga poliisi tugenda kugukola era ye nsonga lwaki mpadde buli muserikale wa poliisi y’ebidduka ekiragiro obutaddamu kukuba mugoba wa mmotoka yenna kipapula ku misango emipya gye tubadde twakateeka mu buuma bwaffe obwa ‘EPS’ okumala akaseera akagere” Niwabiine bwe yategeezezza omusasi wa Bukedde ku ssimu.
Yagambye nti baakusooka okusomesa abagoba bamanye kye kitegeeza okuzza omusango guno, omuli okuvuga sipiidi ezisusse 30 kwezo ezirina okuvugira mu kitundu ekyo ne bakuwa ekibonerezo kya mitwalo 60 okusinziira ku luguudo kw’ovugira.
Okugeza ku luguudo lwa Northern Bypass omugoba yenna talina kuvuga sipiidi essukka mu 70 era ssinga ogisussa bamanye ekibonerezo ki ky’olina okufuna.
Ate mu Kampala wakati enguudo zaamwo zonna omugoba alina kuvuga obutasukka sipiidi 30, nga kino bwe kinaakolebwa kyakuyamba okukendeeza ku bulamu bw’abantu abaabadde bafiira mu bubenje.
Buli mugoba wa kidduka alina okuba ne kkaadi ya mmotoka eyo.
Niwabiine yagambye nti tteeka buli mugoba wa kiduuka alina okukivuga ng’alina kkopi ya kkaadi yaayo era owa ttulafiki bw’agikusaba nga togirina ekibonerezo kya 40,000/-
Yayongeddeko nti ekyasinze okubawaliriza okuteeka etteeka lino mu nkola kubanga libaddewo,abagoba bangi babadde bakola emisango ne basuulawo mmotoka oba ppikipiki ne badduka olwo poliisi n’etwala obudde nga enoonya nannyini yo omutuufu ebyo bikomye.
“Bw’otuuka ku poliisi zaffe mu kiseera kino bodaboda nnyingi abagoba baazo baazisuulawo olw’okuba bazza emisango nga tebalina kkaadi zaazo abalala bazirina naye teziri mu mannya gaabwe,era eno ye nsonga lwaki tetugenda kusaagira mu nsonga eno. Niwabiine bwe yategeezezza.
Niwabiine yagambye nti ne bw’obeera oguze takisi n’ogiwa ddereeva akunoonyeze ssente olina okumuwa kkoopi ya kkaadi yaayo agiteeke mu takisi eno.
Buli nannyini mmotoka yenna akimanye nti bw’ogula mmotoka eno waliwo ebbanga erikuweebwa okugikyusa okudda mu mannya go nga ssinga tokikola nagwo gubeera musango era suubira poliisi y’ebidduka okukubonereza.
Yayongeddeko nti omuntu yenna ssinga onaawa mukwano gwo mmotoka, mukyala wo oba bbaawo mmotoka yo nga teri mu mannya ge, poliisi ejja kumutwala nga bwe wandibadde ne ddereeva wo.
Niwabiine yagambye nti si musango omuntu yenna okuvuga emmotoka etali mu mannya ge, era poliisi tejjanga kukukwata olw’okuba ovuga mmotoka etali yiyo wabula ssinga onaabeera nga olina omusango gwonna ogw’oku luguudo gw’ozzizza.
Okugeza ssinga okoze akabenje tujja kusooka nga kubuuza oba oli ddereeva waayo oba gwe mugagga nannyini mmotoka eno nga obukakafu tulabira ku kkoopi ya kaadi eno.
No Comment