Amawulire

UCC esambazze eby'okuggyako internet mu kiseera ky'okulonda

OMUWANDIISI ow’enkalakkalira mu minisitule y’ebyamawulire Amina Zawedde asambazze ebyogerwa nti gavumenti yalagidde yintanenti egyibweko nga twolekera okulonda wiiki ejja.

Nnyombi Tembo akulira UCC ng'alambulula
By: Lawrence Kizito, Journalists @New Vision

OMUWANDIISI ow’enkalakkalira mu minisitule y’ebyamawulire Amina Zawedde asambazze ebyogerwa nti gavumenti yalagidde yintanenti egyibweko nga twolekera okulonda wiiki ejja.

Ng’asinziira mu lukungaana lwa bannamawulire olubadde ku ssengejjero ly’amawulire erya Media Center mu Kampala enkya ya leero, Zawedde agambye nti tebanafuna kiragiro kyonna kya kugyako yintanenti mu ggwanga, era amawulire ago n’asaba Bannayuganda bagatwale nga ga bulimba.

Zawedde okwogera bino kiddiridde ekiwandiiko okufulumira ku mikutu emigattabantu ng’abakitambuza bagamba nti kyawandiikiddwa ekitongole ekirungamya ebyempuliziganya ekya Uganda Communication Commission (UCC), nga kirabula Bannayuganda nti gavumenti eragidde yintanenti okugyibwako ku Lwokuna lwa wiiki eno nga January 8,2026, era abalina ssente mu bbanka ne ku mobile money bazigyeyo nga bukyali kubanga byonna bigenda kugyibwako ku Lwokuna.

Ekiwandiiko kino Zawedde agambye nti kikyamu, n’asaba Bannayuganda obutasaasaanya mawulire ge batakakasizza nti matuufu.

Ye akulira ekitongole kya UCC Nyombi Thembo agambye nti tanafuna kiragiro kyonna kya kugyako yintanenti mu biseera by’okulonda, era bwe kinaaba kizze ajja kuba abuulira Bannayuganda mu butongole.

Wabula alabudde emikutu gy’amawulire obutalangirira bivudde mu kulonda, okugyako nga bimaze okukakasibwa akakiiko k’ebyokulonda, era olumala okubirangirira ng’ogattako nti bikakasiddwa akakiiko k’ebyokulonda okusobola obutabuzabuza bantu.

Okuweereza amawulire agaguddewo nga bwe gagenda maaso butereevu, nga galimu okwekalakaasa, okuyisa ebivvulu mu nguudo, oba akanyoolagano akalimu effujjo, nakwo Nyombi agambye nti tekukkirizibwa, kubanga tewaba budde bwa kusengejja, ekiyinza okuviirako abantu okutabuka.

Akalulu ka 2026 kagenda kukubibwa nga January 15,2026, ku kifo kya Pulezidenti n’ababaka ba Palamenti.