Omusajja agambibwa okutta omwana ow'emyaka 8 e Mbale, poliisi, emukutte.
David Mangali 50 agambibwa okutta omwana Kareen 8 Makimba nga March 05, gwe bakwatidde e Namisindwa.
Omwana ono abadde omuyizi era ng'abeera Nabirara mu muluka gw' e Buwere mu ggombolola y'e Bupoto mu disitulikiti y'e Namisindwa, yattiddwa, abazadde be bwe aabadde bamutumye pampa ku dduuka.
Omwogezi wa poliisi e Mbale, Rogers Taitika, agambye nti nnyina w'omwana Tamina Watsemba yali amutumye mu katawuni ka Janana ku olwo, era baasanga mulambo.
Agasseeko nti embwa ya poliisi yabatuusa mu maka ga Mangali era okuva olwo, babadde bamuyigga okutuusa lwe bamukuttidde e Namisindwa ng'abadde yekwese.