OMULAMUZI wa kkooti esookebwako e Matugga asindise omuvubuka ow’emyaka 28 e Luzira agambibwa okuwamba omwana ow’emyaka 3 n’akanda bazadde be ensimbi obukadde 40
Shafick Ntege, omutuuze ku kyalo Kyondo e Matugga mu diviizoni y’e Gombe mu Nansana munisipaali akola ogw’okulabirira oluggya, omulamuzi wa kkooti esookebwaako e Matugga Apederet Marion amusomedde omusango gw’okuwamba omuntu n’ekigendererwa eky’okufuna ssente mu lukujjukujju.
Ntege omusango guno yaguzza ku lunaku lw’abakyala nga March 8 omwana Jemima Malayika bwe yali azannya ne banne n’amuwamba ng’ono mu kumutwala kigambibwa nti yatandika okukubira abazadde amasimu ag’okumukumu ng’amukanda obukadde 40 okusobola okumumuwa nga mulamu.
Abazadde oluvannyuma lw’okutegeera nti omwana waabwe awambiddwa poliisi yatandika okukola omuyiggo ku bantu bano era okukkakkana ng’ebakutte.
Yasanga omwana ali mu mbeera mbi nga kiraga nti baali bamutulugunya omuli obutamuwa mmere era poliisi bwe yabakwata Malayika baali bamusibidde mu kisenge.
Wano Omulamuzi Apederet amusomedde era natamukirizza kubaako kyonna kyayogera kuba omusango gwanaggomola era nalagibwa okutwalira e Luzira okutuuka nga mwenda omwezi ogw’okuna kyokka bwaba nga ayagala okusaba okweyimilirwa alina kugenda Nabweru kuba kooti ye Matugga ku musango guno telina lukusa kumuwa okweyimilirwa ku musango guno.