Amawulire

Katikkiro agambye nti Uganda ne Africa Tekinologiya y'alina okubabbulula

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti Uganda ne Afirika bwebinabeera byakutuuka ku nkulakulana, essira lirina kuteekebwa ku kutumbula Sayansi ne Tekinologiya. 

Mayiga ng'atongoza akatabo ak'ebijjaguzo by'emyaka 25
By: Dickson Kulumba, Journalists @New Vision

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti Uganda ne Afirika bwebinabeera byakutuuka ku nkulakulana, essira lirina kuteekebwa ku kutumbula Sayansi ne Tekinologiya. 

Mayiga asinzidde ku kino n'awa amagezi abantu wamu ne Gavumenti za Afirika okuteeka amaanyi mu kutumbula ebyenjigiriza kubanga mu byo sayansi ne Tekinologiya mwasomesebwa. 

Mayiga ng'atongoza nnamutayiika ya Stena schools

Mayiga ng'atongoza nnamutayiika ya Stena schools

Sayansi ne tekinologiya bisimbye mu byanjigiriza. Ekyasobozesa abeera okututwalako ensi zaffe lwakuba baakulembeza eby'enjigiriza. Eky'okulwanyisa kyebaakozesa eky'emmundu kyaaba mu Sayansi ne tekinologiya,"Mayiga bweyagambye.

Katikkiro Mayiga yasambazze ebyoogerwa abakulembeze ba Afirika nti abakulembeze b'ennono abaaliwo mu kiseera abafuzi b'amatwale webajjira nti baalemererwa okwegatta okubalwanyisa naye ne yeebuuza nti abakulembeze abo tebeegatta okutaasa Muamar Gaddafi eyali Pulezidenti wa Libya bweyalumbibwa amawanga g'abazungu mu 2011.

Okwogera bino yasinzidde ku bijjaguzo by'emyaka 25 egya Stena Hill SS e Lukuli- Nnanganda mu Divizoni ye Makindye mu Kampala ku Lwokusatu March 25,2026 n'agamba nti Sayansi ne tekinologiya bisaana okuyigirizibwa abaana okuva buto balyoke bayiiye ebitwala Afirika mu maaso.

Ku mukolo guno era, Mayiga yatongoza enteekateeka Nnamutayiika ey'emyaka etaano 2026-2030 ey'essomero n'akuutira abalikulembera okulaba nga buli kimu kya mutindo ate basobozese abaana okumanya ennono n'obuwangwa bwaabwe. 

Katikkiro Mayiga n'Abakulu abalala mu kusala keeki

Katikkiro Mayiga n'Abakulu abalala mu kusala keeki

Okusaba kw'okwebaza Katonda olw'emyaka 25 kwa kukulembeddwamu Omulabirizi Omubeezi owa Kampala eyawummula Bp. Hannington Mutebi ng'ono yeebazizza aba Stena Schools okutunula mu byebayiseemu ate nebakomawo okwebaza Katonda kubanga mu bulamu buli omu aliko eddungu oba okusomoozebwa kwayitamu kyokka Katonda n'amusobozesa okukuyitamu n'olwekyo ng'asaana okwebazibwa. 

Dayirekita w'amassomero ga Stena Christopher Bwanika ng'era ye Ssabawolereza wa Buganda yagambye okukwata obulungi abasomesa n'okukula wamu nabo kiyambye okuwa essomero lino omusingi omugumu ogwetanirwa abazadde. 

Joan Namukasa nga y'akulira emirimu mu massomero ga Stena agambye nti bayise mu kusomoozebwa okutali kumu nga  olumu babbibwako n'ebikozesebwa mu kuzimba okwaali ensawo za seminti 200 n'emitayimbwa kyokka nebalemerako. 

Katikkiro Mayiga n'abasomesa ba Stena schools

Katikkiro Mayiga n'abasomesa ba Stena schools

Omukolo gwetabiddwako Omulangira David Kintu Wasajja, Baminisita Choltilda Nakate Kikomeko ow'ebyenjigiriza mu Buganda, Joseph Kawuki owa gavumenti ez'ebitundu, Hajj Amisi Kakomo ow'ebyobulimi, Kaggo Hajj Ahmed Magandaazi Matovu, Omwami w'eggombolola ye Makindye Hajj Musa Musoke Ssemambo n'abakungu abalala bangi. 

Katikkiro Mayiga yaguddewo n'ebizimbe okuli ekyabuddwamu Omugenzi Florence Namulwana Bwanika ng'ono yali Mukyala wa Ssabawolereza Bwanika eyafa kovidi, n'ekisulo ky'abayizi abalenzi.