Amawulire

Ekibiina ekigatta abakozi kitaddewo omukutu gwebagenda okkozesa okwogera ku  bibasoomooza

EKIBIINA ekigatta  abakozi mu ggwanga ekya National Organisation of Trade Unions (NOTU) bataddewo  omukutu abalina okwebuuza n’okwemulugunya ku nsonga za bakozi we basobola okuyambibwa   

Kamisona Egulo Lawrence ng'atonoza omukutu, ate ku kkono ye ssabawandiis wa NOTU Richhard Bigirwa ate ku ddyo ye ssentebe wa NOTU Musa Okello
By: Sarah Zawedde, Journalists @New Vision

EKIBIINA ekigatta  abakozi mu ggwanga ekya National Organisation of Trade Unions (NOTU) bataddewo  omukutu abalina okwebuuza n’okwemulugunya ku nsonga za bakozi we basobola okuyambibwa 

Omukutu guno ogwatumiddwa  “NOTU Migrant Workers”   gwatongozeddwa , Kaminsona Lawrence Egulu  okuva mu  minisitule evunanyizibwa ku by’emirimu ne kikula kya bantu  ku mukolo ogwabadde ku Hotel African  nga gwetabuiddwako abakungu  ab’enjawulo okuva mu bitongole  bingi  ebivunanyizibwa ku bakozi  ne by’emirimu  omuli abatambuza abantu , minisitule evunanyizibwa ku bakozi nabalala  

Egulu yasiimye enkola etandikiddwawo NOTU  wabula n'alaga nti   buvunanyizibwa bwabwe   okulaba nga bakolera  wamu okusobola okutunda , okubunyisa n’okutumbula  enkola eno okulaba nga ebbuna eggwanga lyonna .

Egulu ku ssimu ng'agezesa omukutu okugutongozeddwa

Egulu ku ssimu ng'agezesa omukutu okugutongozeddwa

Yagambye nti enkola eno  egenda  kuyambako  kinene okulolonda abakozi ababdde bafuna obuzibu naddala abatwaliddwa okukola  mu mawanga ge bweru

“Kibadde kizibu okutegera omuwendo gw’abakozi abali ebweru we ggwanga kubanga abamu babadde bafuluma nga bakukusiddwa ne batwalibwa mu biyumba wabula bamanyika luvannyuma nga bamaze kufuna buzibu .

Wabula enkola eno egenda kuyambako okubalondola kubanga bangi bajja kweyambisa omukutu guno  okubatukirira basobole okuyambibwa mu bwangu “ Egulu bweyagambye  

Egalu  yayongeddeko nti  enkola eno okutambula obulungi batekeddwa okwegatta bakolere wamu ne bibiina byonna ebivunanyizibwa ku nsonga za bakozi  okulaba nga balwanirira eddembe lyabwe  bonna , yonna  gye bakolera n’okulaba nga bakulaakulana .Yayongeddeko nti  kigenda  kuyambako okugondezamu abantu abagala okukolera mu mawanga amalala  nga basooka kwebuuzako  ne bamanyisibwa ekikwata ku mawanga gye bagadde okugenda okukolera  ne nneyisa ya bantu bano baleme kuggwayo  nga tebategedde nkola yabwe

Musa Okello nga ye ssentebe we kibiina kya NOTU yagambye nti  omukutu guno gwa bantu bonna awatali kulobozamu , nasaba  okugweyambisa nga baliko ensonga yonna gye bagala okwebuuzako ekwata ku mukozi .

Yayongeddeko nti  nti abantu basobola okweyambisa omukutu guno nga babatukirira nga tebanaba kusalawo ku nsi gye bagenda okukolera basooke bamanye ebigikwatako  ne mbeera y’obudde oluvannyuma balyoke bagende  nga alinako eitono kyagitegerako  .

Richard Bigirwa nga ye ssabawandiisi we kibiina kya  kya NOTU yagambye nti omukutu guno gwatondeddwawo  nga bayambibwako  ekibiina kya bakozi mu nsi nyonna ekya International Labour Organization (ILO)  nga bagenda kukolera wamu mu kutumbula embeera abakozi mu mawanga yonna gye bakolera  .

Abakulembeze ba NOTU n'abamu ku beetabye mu kutongoza omukutu

Abakulembeze ba NOTU n'abamu ku beetabye mu kutongoza omukutu

Yagambye nti balina abakozi abali obulindala nga  bagenda kukolera wamu ne bitongole bya gavumenti ebyenjawulo ebikola ku by’okwerinda  omuli  poliisi , ISO , ESO ne birala nti singa omukozi  yenna afuna obuzibu ne bwabeera mu kiyumba asobola okulondolwa nayambibwa singa abatukirira ku mukutu  okulabanga nga ayambibwa okuva mu kizibu kino   , Yagambye nti basobola okukozesa abenganda zaabwe ne babatukirira ku mukutu guno   0800111445 nga tosasaudde  

Era enkola eno egenda kuyambako okutangira abakozi  abali mu ggwanga nabali ebweru we ggwanga  okutulugunyizibwa  ne gavumenti okulaba nti abantu bano bakola kinene  mu nkulakulaana ye ggwanga .

Bigirwa yagambye nti abantu abakolera ebweru betaaga okumanyisibwa ku ngeri gye basobola okukola  nga ssente zabwe tezibbibwa benganda zabwe nga tubayambako   okuyigira  mu bitongole nga  NSSF , Yinsuwalensi ebisobola okutereka ssente zaabwe okumala ebbanga ne basobola okuzisanga nebazikozesa okwekulakulaanya .

Namubiru Rwabushaija omubaka wa bakozi yagambye nti abakozi bbafunye eddooboozoi eryawamu  eribayambako okuguusa ensonga zabwe ne zisobola okuwulikika mu bantu abayinza okubayamba nga bayita mu tteeka lya bakozi erya ILO  

Yagambye nti enkola eno yakumbako  okukendeza enkola y’okukusa abantu nga batwalibwa mu mawanga amalala nga  nga tebamanyi kyebagendako n’okumanya gye bagenda engeri gye wafananamu