Omujaasi Cpl Richard Abigaba 40 ng’akola mu kitongole ky’ennyonyi ekya Entebbe Airforce Wing nga Section Commander avunaaniddwa wamu ne Moses Agaba eyeeyita Sengo Mathias 43 ng’abeera Ndugutu mu distukiti y’e Kasese.
Baabadde mu kkooti y’amaggye e Makindye mu maaso g’omulamuzi Col. Frederick Kangwamu ne bavunaanibwa emisango mukaaga egy’okufuna ssente mu lukujjukujju era bombi ne bagyegaana.
Abawawaabirwa nga bawolerezebwa munnamateeka Elizabeth Nyansingwa yategeezezza kkooti nti abawawaabirwa baagala kutuula n’oludda oluwaabi bakkirize emisango mu nkola y’okukola endagaano n’okuweebwa ekibonerezo ekisaamusaamu ekimanyiddwa nga Plea Bargaining.
Emisango egibavunaanibwa kigambibwa nti baagizza nga April, 2024 mu ngeri y’okukozesa olukujjukujju era baafuna emitwalo 20 okuva ku Francis Opoka.
Mu August 2024 baakozesa olukujjukujju ne bafuna emitwalo 31 okuva ku Harriet Fuacan, ne bafuna emitwalo 34 okuva ku Justinu Banja Ongyera, emitwalo 32 okuva Patrick Okello, emitwalo 20 okuva Latif Komakech n’endala emitwalo 48 okuva ku Grace Ajogocan.
Ssente zino kigambibwa nti baazifuna nga bakozesa olukujjukujju ku kyalo Ndugutu mu ggombolola y’e Bugoye mu disitukiti y’e Kaseese.
Omuwaabi w'amagye, 2Lt Anthony Olupot yategeezezza kkooti nti okunoonyereza kuwedde n’asaba abawawaabirwa okutwalibwa mu kkomera okutuusa nga April 1, 2026.
Abigaba yatwaliddwa mu kkomera lya magye ate Agaba n’atwalibwa e Luzira.