Amawulire

Abazigu babbye ssente ku musuubuzi abadde ayingira bbanka okuziterekayo ne babulawo ku bodaboda

ABAZIGU abatambulira ku bodaboda ne balondoola abantu abalina ssente balumbye omusuubuzi  abadde ayingidde bbanka okuziterekayo emisana ttuku  ne bamukuba ne bamutwalako ensawo mwe zibadde.

Abazigu babbye ssente ku musuubuzi abadde ayingira bbanka okuziterekayo ne babulawo ku bodaboda
By: Eria Luyimbazi, Journalists @New Vision

ABAZIGU abatambulira ku bodaboda ne balondoola abantu abalina ssente balumbye omusuubuzi  abadde ayingidde bbanka okuziterekayo emisana ttuku  ne bamukuba ne bamutwalako ensawo mwe zibadde.

 

Bino byabaddewo ku Lwokuna ku ssaawa 6:00 ez’omu ttuntu  abazigu bwe baataayizza omusuubuzi ng’ayingira bbanka ya Centenary ettabi lyóku Nkurmah  ne bamukuba n ebamusikambulako ensawo ne babulawo.

 

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Racheal Kawala yagambye nti abazigu kirabika bazze bamulondoola.

Yagambye nti baabadde batambulira ku bodaboda ezisoba mu 10 era bwe bazze ne bakwata ensawo eyabaddemu ssente ezitamanyikiddwa muwendo ne beeyongerayo nga kirabika bamulondodde okuva gye bavudde okutuuka mu bbanka.

 

Yategeezezza nti okunoonyereza poliisi ya CPS yakutandise era etandise okwetegereza ebifaananyi ebyakwatiddwa kkamera zaayo ez’oku nguudo era nga waliwo ffeesi ze bategeddeko nga be bamu abazze bakwatibwa mu bubbi  naddala mu kulondoola n’okukuba abantu abatambula ne ssente.

 

Yasabye abantu bonna abatambula ne ssente okutuukirira poliisi ebawe obukuumi okusobola okutangira abazigu okubalumba

 

Abazigu bano we babbidde omuusubuzi nga poliisi yaakakwata abazigu abalala abalondoola omuntu nga balina ejjambiya ne bamubbako ensawo omuli ssente obukadde 63 mu ppaaka ya ttakisi mu Kisenyi ku kizimbe ya Gwanda.

 

Ensonda zaategeezezza nti abamu ku bazigu abeenyigidde mu kulumba ókubba ssente kuliko Mugisha, Lukwago Zenda , Kayiira n’abalala.

Tags:
Amawulire
Basuubuzi
Kukwata
Kubba
Kukuba