Amawulire

Ebintu by'abayizi abasoba mu 200 bisaanyeewo mu muliro ogukutte ekisulo ky'essomero e Mbale

Omuliro guno gukutte essomero lya Elgon Junior Christian School e Kiyanja cell mu Central ward mu Mutufu town mu disitulikiti y'e Sironko ne gusaanyaawo bya bukadde.

Ebintu by'abayizi abasoba mu 200 bisaanyeewo mu muliro ogukutte ekisulo ky'essomero e Mbale
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Ebintu by'abayizi abalenzi abasoba mu 200, bisaanyeewo mu muliro ogukutte ekisulo ky'essomero e Mbale. Teri muyizi yenna afudde wadde okulumizibwa era ng'okunoonyereza kugenda mu maaso.

Omuliro guno gukutte essomero lya Elgon Junior Christian School e Kiyanja cell mu Central ward mu Mutufu town mu disitulikiti y'e Sironko ne gusaanyaawo bya bukadde.

Omukulu w'essomero Rogers Wogoli nga bali wamu ne meetulooni Moreen Nanduga, be batemezza ku poliisi esobodde okugenda mu kifo okuguzikiza naye nga gumaze okusaanyaawo ebintu by'abayizi abalenzi, ebiwerako.

Omwogezi wa poliisi e Mbale, Rogers Taitika, agambye nti, tekinnazuulwa kivuddeko muliro, naye nga gutandikidde mu siriingi ne gubuna ebizimbe.

Tags:
Amawulire
Ssomero
Muliro
Gukutte
Kusaanawo
Kisulo