Museveni atenderezza Omusumba wa Kigezi ng’ajaguza emyaka 50 mu buweereza
May 20, 2025
Museveni atenderezza Omusumba wa Kigezi ng’ajaguza emyaka 50 mu buweereza

NewVision Reporter
@NewVision
PULEZIDENTI Museveni atenderezza n’okusiima emirimu egikoleddwa omusumba w’essaza lya Kigezi, Calist Rubaramira mu kutumbula obuweereza mu ssaza lino.
Okusiima kuno yakutadde mu bubaka bwe yatisse omumyuka we, Rtd. Jesca Alupo eyamukiikiridde ku mukolo omusumba kwe yawerezza emyaka 50 mu buweereza
ate n’okujaguza emyaka 75 egy’obukulu.
Rubaramira yazaalibwa mu mwaka gwa 1950 ku kyalo Rubira mu ggombolola ya Kyanamira mu disitulikiti y’e Kabale, nga mutabani w’abagenzi Srepiriano Kwigira ne nnyina Seforoza Bamusibane.
Obudyankoni yabufuna mu 1974 ate obasaseredooti mu 1975 ku kasozi Rushoroza. Yafuulibwa omusumba mu 2003 nga era yaliko caansala w’essaza nga ye yadda mu bigere bya Barnabas Arerimumana. Museveni yategeezezza ng’omusumba Rubaramira
bw’akyusizza ekitundu kya Kigezi ng’asomesezza abantu okukola bw’atandiseewo pulojekiti ez’enjawulo omuli ez’ebyobulamu, ebyenjigiriza, ng’ateekawo amasomero mu
bitundu eby’enjawulo.
Mmisa y’okwebaza yakulembeddwa Ssaabasumba w’essaza ekkulu, Lambert Beinomugisha eyasabye abagoborezi okuyamba ku Musumba Rubaramira okutambuza emirimu gino.
Ssaabasumba Beinomugisha yamutenderezza okuba omusaale mu kugaziya obuweereza bw’eddiini. Ssaabasumba ategeezezza nti Omusumba Rubaramira kyakulabirako kinene eri abaweereza ng’asobodde okukyusa ekitundu kya kigezi mu by’omwoyo, ebyenjigiriza n’ebyobulamu awamu n’okulwanyisa obwavu mu bantu ekyongedde eddiini y’Obukatoliki okugaziwa mubitundu bya Kigezi n’okusala ensalo okugenda mu Rwanda.
Omukolo gwetabiddwaako minisita w’ebyokwerinda munda mu ggwanga, Maj. Gen Jim
Muhwezi, minisita omubeezi ow’ebyensimbi, Henry Musasizi, minisita omubeezi ebyamakolero n’obusuubuzi, David Bahati n’abalala. Ate omusumba Rubaramira mu kwogera kwe, yawabudde abazadde okussa amaanyi mu kusomesa abaana baabwe
n’okubayigiriza okukola.
Yeetondedde be yasobyan’ategeeza nti si kyangu okugamba nti mu biseera by’amaze g’aweereza talina gw’asobezza. Abantu baamuwadde ebirabo
bingi wamu n’okumukwasa ceeke ya bukadde 200 okumuyozaayoza.
No Comment