Poliisi e Kiboga ekutte abantu 52 abagambibwa okukuba olukung’aana mu bukyamu ekiro.
Abakwatiddwa, bonna bakuumirwa ku poliisi eyo ng'okubuuliriza bwe kugenda mu maaso.
Bano, kigambibwa nti baasangiddwa ku Nile Gardens mu kibuga e Kiboga ku ssaawa nga bbiri ekiro ekikeesezza leero, era nga balumiriza omu ku bannabyabufuzi Jimmy, okubakunga ne bakung’aana.
Kitegeezeddwa nti bano bonna, balonzi okuva mu Kiboga West Constituency era nga poliisi enoonya omu ku beesimbyewo ku bubaka bwa palamenti ku bwannamunigina Muhamudu Kibuuka agambibwa okubaako ky'abamanyiiko.
Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi, ategeezezza nti gwe balumiriza okubakunga Jimmy, adduse nga naye bamuyigga.