Amawulire

Abeepisikoopi ba Uganda basabye bannayuganda bonna okukuuma emirembe wakati mu kuyingira omwaka

Abepiskoopi ba Uganda bafulumizza obubaka obw’awamu, mwebakulisirizza Bannayuganda Amazaalibwa ga Kristu, ate n’okutuuka mu mwaka omujja, ogwa 2026.  

Polofeesa Joseph Antony Zziwa ng'asabira abantu omukisa
By: Mathias Mazinga, Journalists @New Vision

Abepiskoopi ba Uganda bafulumizza obubaka obw’awamu, mwebakulisirizza Bannayuganda Amazaalibwa ga Kristu, ate n’okutuuka mu mwaka omujja, ogwa 2026. Basinzidde mu bubaka buno ne bavumirira ebikolwa eby’obukambwe, effujjo, n’obukyaayi, eby’eyolekedde mu kkampeyini z’eby’obufuzi ezigenda mu maaso mubitundu by’eggwanga ebitali bimu.

Banenyezza nnyo abaserikale ba Poliisi, n’ebitongole ebikuumaddembe ebirala, abakijjanya n’okukuba bannabyabufuzi ab’oludda oluwabula gavumenti, n’abawagizi baabwe, oluusi nebatuuka n’okubatta.

Bano babasabye bakole omulimu gwabwe ogw’okukuuma Bannauganda n’ebintu byabwe  mumazima, n’obwesimbu, ate ngabagoberera amateeka ngabwegalambikiddwa mu Ssemateeka w’eggwanga n’etteeka ly’eby’okulonda. Babasabye bwebaba bakwasisa amateeka n’ebiragiro baleme kubeera nakyekuubira, waleme kubeerawo ludda lwonna lunyigirizibwa.

Basabye n’Akakiiko k’eby’okulonda kakole omulimo gwako mumazima n’obwesimbu, n’obwenkanya, era kalage nti kekalina obuyinza, era keekakutte enkasi y’enteekateeka zonnna ez’eby’okulonda, Bannauganda babe ngatebafuna nsonga yonna ebaleetera kukatankana, n’okutankana ebinaava mykulonda.

“Ngatusemberera olunaku lw’okulonda, olunaaberawo nga January15, 2025, tusaba abo bonna abali kumulimo gw’okuteekateeka eby’okulonda okukola omulimo guno mu ngeri esaanidde, essa ekitiibwa mu buli Munnauganda, ne bwaba nga wandowooza y’abyabufuzi endala. Nammwe bannaffe bannabyabuzi, etteeka libalagira okweyisa mu ngeri ennungi, etesiikula fitina wadde obukyayi wakati wa Bannauganda. Tubasaba mugoberere amateeka ne Ssemateeka.

Ate nammwe balonzi bannaffe, tubasaba muwulirize abeesimbyewo bonna, musobole okwefumiitiriza n’okusalawo obulungi kw’oyo asaanidde, era ajja okubaweereza obulungi. Temukkiriza kuweebwa nguzi. Temwetaba mubikolwa byakuyiwa musaayi. Mulonde abantu abatuufu, abanaabaweereza era abanaateekerateekera eggwanga lyaffe obulungi. Tubakuutira, olunaku lw’okulonda bwerunaaba lutuuse, mwenna abalina ebisaanyizo, mugende mulonde abantu bemwesiimidde. Bannauganda bannaffe mwenna tubasaba mutabagane, era mukuume emirembe n’obumu n’addala mukiseera kino eky’okugezesebwa,”

Abepiskoopi era baalaze obweraliikirivu olw’obwavu obukudde ejjembe, n’olukonko olweyongera obuwanvu wakati a’abaavu, n’abagagga. Baasabye abakkiriza okujuna abanaku, n’abali mu bwetaavu bonna.

Obubaka bw’Abepiskoopi buno bw’ayanjuddwa Ssentebe w’Olukiiko lwabwe, era nga ye Mwepiskoopi w’essazza ly’e Kiyinda-Mityana, Polofeesa Joseph Antony Zziwa, ku ggwandiisizo lya Klezia Katolika e Nsambya (ku Lwokusatu nga December 24, 2025).