Amawulire

Hadijah Namyalo asomesezza abantu b'e Jinja engeri gyebalina okulondamu pulezzidneti Museveni

AKULIRA offiisi ya ssentebe wa NRM mu ggwanga Hajjat Namyalo asomesezza abawagizi b’ekibiina kyabwe mu disitulikiti y’e Jinja engeri ennungamu gye balina okutikinga akalulu ka Pulezidenti Museveni okwewala okumuttira obululu bwe nga bweguze gubeera mu kulonda okubaddewo.

Hadijah Namyalo ng'asomesa abantu be Jinja bwebalina okulonda Mzee
By: Joseph Mutebi, Journalists @New Vision

AKULIRA offiisi ya ssentebe wa NRM mu ggwanga Hajjat Namyalo asomesezza abawagizi b’ekibiina kyabwe mu disitulikiti y’e Jinja engeri ennungamu gye balina okutikinga akalulu ka Pulezidenti Museveni okwewala okumuttira obululu bwe nga bweguze gubeera mu kulonda okubaddewo.

Mu lukungaana olwasombodde nnamungi w’abantu eyakungaanidde ku nguudo z’akabuga ka Buwenge Town Council,  ekisangibwa mu disitulikiti y’e Jinja ku Lwokusatu Namyalo yagambye nti nkimaanyi ku luno ebitundu bya Busoga ebisinga bya NRM naye kati tulina kulaba nga tubasomesa obutatta bululu bwaffe nga mulonda.

Namyalo ng'ali mu lukungaana olusabira Mzee akalulu e Jinja

Namyalo ng'ali mu lukungaana olusabira Mzee akalulu e Jinja

 “Mu kulonda kwa Pulezidenti okwa 2021,  obululu obuli mu 393,500 bwafa, mu 2016 obululu 477,300 nabwo bwafa era ekibiina kya NRM kirowooza nti olw’omukwano omungi abawagazi ba Pulezidenti Museverni gwe bamulinaako okwetoloola eggwanga batikinga mu kabonero ka bbaasi abalala ku kikoofira ne baleeka okutikinga mu bookisi ye oba okuteeka ekinkumu mu bookisi ye,  ne kiviirako obululu kumpi ebitundu 80 ku 100, kw’obwo obwafa bwali bwa NRM kyetutayinza kukkiriza ku mulundi guno kuddamu kutuukawo” Namyalo bweyategezezza.

     Yayongeddeko nti ye ng’akulira offiisi ya ssentebe wa NRM mu ggwanga era eyaweebwa obuvunaanyizibwa okukulira abagenda okukuuma akalulu ke okwetoloola eggwanga siyinza kutunnula butunnuzi ku linda lunnaku lwa kulonda kukuuma kalulu nga abantu abamu mpulira tebamanyi kya kukola nga balonda era nnange ngenda kuyambako akakiiko k’ebyokulonda nga ntalaaga ng abwe nsomesa abantu engeri entuufu gye balina okulondamu.

       Namyalo ng’akozesa ekipande eky’efaananyirizaako akalulu nga bwe kagenda okubeera yasomesezza abantu b’e Buwenge nti tebatikinga ku bbaasi oba ekikoofira olw’omukwano gwe balina ku Museveni ako akalulu kabeera kafu.

  “Ba ssebo ne bannyabo mulina kutiikinga mu bookisi erekeddwawo esemba mu maaso oba okuteekamu ekinkumu kyamwe olwo bw’omala okulonda Museveni n’ababaka ba NRM bonna abagikwatidde bendera ne mukola mu nkola yemu nga mudda eka nga mulinda akakiiko k’e by’okulonda okulangira ekyenkomeredde kubanga keekoka ssemateeka kaawa obuyinza okukola omulimu ogwo” Namyalo bweyategezezza.

Namyalo ng'anonyeze Mzee akalulu

Namyalo ng'anonyeze Mzee akalulu

    Nsaba bwe mubeera mulonda tikinga akalulu omulundi gumu gwokka, tikinga mu bookisi ekulekerddwawo entuufu, topaapa era nkusaba okikole mu bwegendereza okusobola okwongera Museveni okumuwa obuyinza agende mu maaso n’okukuuma eggwanga lyaffe n’ebyo ebitukiddwako” Museveni bweyategezezza.

         Namyako ng’ayita mu kampeyini gye yatuumye “Busoga tikinga” yasabye Banna- Busoga okubeera eky’okulabirako ku bitundu ebirala okwetoloola eggwanga okuwa Museveni obululu ebitundu 90 ku 100 kubanga abakoledde era akyabakoleera.

                Omwogezi w’akakiiko ka kabondo ka NRM era avuganya ku kifo ky’omubaka wa Palamenti ekya Kagoma North, Alex Brandon Kintu, yasabye Abasoga okulonda Pulezidenti Museveni n’okukakkasa nti batikinze bulungi kubanga mu kiseera kino balaba nga omuntu waabwe yasinza nnamba y’abawagzi kyokka tekimala singa omuntu abeera talonze bulungi n’amaliriza ng’asse akalulu.

Namyalo ng'ali n'abawagizi ba Pulezidenti Museveni e Jinja

Namyalo ng'ali n'abawagizi ba Pulezidenti Museveni e Jinja

          Ramathan Matege,  ssentebe w’abavubuka ba NRM mu disitulikiti y’e Jinja, yagambye nti ye Museveni tamubanja kubanga singa tegwali mulembe gwe teyandisomye ng’omwana w’omunnaku eyafuna omukisa n’asomera ku ssente za bonna basome ku mitendera gyonna okutuuka okumalako siniya ey’omukaaga.

       Matege yasabye Pulezidenti Museveni okubazimbira akatale ak’omulembe ne ppaaka mu Buwenge kibayambe okukendeza ku bubbi abayaaye bwe bakozesa omukisa okubbira abantu abalinnyira mmotoka mu kavvuyo k’oku makuubo.

          Meeya wa Buwenge Town Council,  Hassan Isabirye Kinosa, yagambye nti bafunye mu bukulembeze bwa Museveni kubanga amasomero ga gavumenti n’amalwaaliro bagalina era n’asaba Banna- Buwenge okujjumbira okugenda okulonda Museveni nga January/15/2026

Namyalo ng'akuba omuziki

Namyalo ng'akuba omuziki

       Yasabye Pulezidenti nti bw’amala okulayiira ekisanja ekijja kubanga yakiwangudde dda nabo abakoleere ku  nsonga y’e byapa bya kubanga Buwenge yonna etude ku ttaka ly’abantu ba lubattu abayinza okubagoba ssaawa yonna kyokka nga bataddeko enkulaakulana yabwe nabo basaba abagulire ebyapa bino nga bwaze akikola mu bitundu by’e ggwanga eby’enjawulo naddala mu Buganda.

Namyalo nga tanagenda Buwenge yasoose kutuukako ku biyiiriro bya Bujagali e Jinja okusaba abantu abawangalirawo okumanya amakulu g’okuwa Museveni akalulu kubanga tebeera kuba ye [Museveni] singa ensiza gye bakoleerawo baabagobawo dda era nabasaba bamusabire mu misambwa gyabwe awangule akalulu.

      Yagambye nti tagenda kukoma kusomesa Jinja wokka engeri gye balina okutikingamu akalulu ka Museveni n’abakwatidde NRM bendera ku mitendera egy’enjawulo wabula agenda kweyongera okutalaaga eggwanga lyonna