Minisita w’ebyenjigiriza n’ebyemizannyo, Janet Kataha Museveni asisinkanye ebibiina by'abakyala bonna mu ggwanga n'abasaba okwataganira wamu okusobola okutuuka ku ssa erikola bbanka y'abakyala eyeetongodde .
Bino bibadde ku kisaawe e Kololo gy’abadde mu kutongoza ekibiina ky’abakyala ekya NRM National Women's league ekitambulira ku mulamwa ogugamba nti abakyala bonna ba Museveni.
Essaala egguddewo omukolo ekulembeddwa paasita Jessica Kayanja owa miracle center cathedral Lubaga.
Ssentebe wa NRM National women's league Hon. Adrine Kobusingye nga ye yakulembeddemu enteekateeka eno ye agambye nti okukunga abakyala bano yagenderedde okulaga eggwanga engeri gavumenti ya NRM gy’esitudde abakyala bonna ku mitendera egy’enjawulo.
Omumyuka wa pulezidenti, Rtd Maj. Gen Jesca Alupo asabye abakyala okukola obulungi era n’amaanyi mu bifo bye balimu ku lwenkulaakulana y'eggwanga ey'omuggundu .
Mukyala Museveni yeebazizza abakyala bonna ababaddewo ku mukolo wamu n'obuwagizi bwabwe eri pulezidenti Museveni .
Akubirizza abakyala okwongera okukola ennyo okutuusa ku ssa eritandikawo bbanka ya bakyala eyeetongodde esobole okuyamba abakyala abalala mu byensimbi
Nga akalulu kasemberedde, mukyala Museveni yagambye nti bakyala basaale nnyo mu kutegeka ebiseera by’eggwanga eby’omu maaso bw’atyo n’abasaba okusinziira gye bali okukuuma emirembe nga boogerako n’abavubuka obutakozesebwa bannakigwanizi kwenyigira mu mivuyo ng’ate bo bennyini abaana baabwe babatwala mitala wa Mayanja.
Yayongedde n’ategeeza nti bangi tebalonda nga balowooza nti akalulu kaabwe tekalina makulu ekintu ekikyamu n’abakunga okweyiwa mu bungi okwenyigira mu kulonda abakulembeze ab'ensa.
Abakunze okuwa pulezidenti Museveni akalulu nga tebakitwala nga abamuyamba obuyambi wabula bakitwale nti bamujjukiza okusiima kwabwe ng’abakyala olwenkyukakyuka gy ebanyumiddwa olw’obukulembeze bwe obulungi.
Oluvannyuma atongozza ekibiina ky’abakyala abawagira ekibiina kya NRM ekyatuumiddwa NRM National women's league