Munnamawulire awandiise ekitabo ku by’obufuzi

Apr 25, 2025

MUNNAMAWULIRE era munnabyabufuzi, Ismail Ddamba Kisuze awandiiseekitabo ku by’obufuzi by’eggwanga, n’alaga enkwe n’obunnanfuusi ebijjudde ebyobufuzi.Ddamba eyaliko kkansala w’e Kabowa ne Mutundwe mu KCCA 2016-2021, y’awandiise ekitabo ky’atuumye “Nsalessale” ekyoleka obunnanfuusi mu by’obufuzi n’ebizibu mu ggwanga. Ddamba abadde ne mukyalawe Janat Namuli agamba nti, mu kitabo kye akoonye ku bintu bingi omuli; enkwe za bannabyabufuzi, okutemulwa kw’Abasiraamu, engeri abakuumaddembe gye bayamba abazzi b’emisango okugizza n’okubejjeereza, n’awabula abantu okwerowooleza nga basalawo baleme kuwubisibwa balala olw’ebyobufuzi.

NewVision Reporter
@NewVision

MUNNAMAWULIRE era munnabyabufuzi, Ismail Ddamba Kisuze awandiise
ekitabo ku by’obufuzi by’eggwanga, n’alaga enkwe n’obunnanfuusi ebijjudde ebyobufuzi.
Ddamba eyaliko kkansala w’e Kabowa ne Mutundwe mu KCCA 2016-2021, y’awandiise ekitabo ky’atuumye “Nsalessale” ekyoleka obunnanfuusi mu by’obufuzi n’ebizibu mu ggwanga. Ddamba abadde ne mukyalawe Janat Namuli agamba nti, mu kitabo kye akoonye ku bintu bingi omuli; enkwe za bannabyabufuzi, okutemulwa kw’Abasiraamu, engeri abakuumaddembe gye bayamba abazzi b’emisango okugizza n’okubejjeereza, n’awabula abantu okwerowooleza nga basalawo baleme kuwubisibwa balala olw’ebyobufuzi.
“Akatabo kano kakwata ku bulamu bwange mu by’obufuzi bye nayingira ku myaka emito. Ndabye bingi bye nsazeewo okuteeka mu buwandiike mbigabaneko n’abantu bamanye ensi bw’etambula,” Ddamba bw’agamba. Omubaka w’amasekkati ga Kampala
Muhammad Nsereko, abadde omugenyi omukulu mu kutongoza ekitabo, yeebazizza Ddamba olw’obuyiiya, amagezi n’okufumitiiriza byakozesezza ng’akiwandiika, n’asaba abantu okwettanira okuwandiika ebitabo.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});