ByabakamaAkakiiko k'ebyokulonda kannyonnyodde ku bitundu ebitaafunye nkalala z'abalonzi

Apr 28, 2025

AKAKIIKO k’ebyokulonda kagenda kuteekawo ennaku ez’enjawulo eri ebifo ebironderwamu ebisoba mu 600 ebitaafunye nkalala z’abalonzi, mwe bajja okwekebejjera amannya gaabwe.

NewVision Reporter
@NewVision

AKAKIIKO k’ebyokulonda kagenda kuteekawo ennaku ez’enjawulo eri ebifo ebironderwamu ebisoba mu 600 ebitaafunye nkalala z’abalonzi, mwe bajja okwekebejjera amannya gaabwe.

Akulira akakiiko k’ebyokulonda, omulamuzi Simon Byabakama ye yabitegeezezza bannamawulire bwe yabadde atongoza enkalala z’abalonzi ku ofiisi z’akakiiko mu Kampala.

Byabakama yagambye nti, baafunye obuzibu mu byuma ebikuba enkalala z’amannya g’abalonzi bwe byafulumizza ng’ebifo ebimu tebiriiko.

 

Ebifo ebisinga ebikola ebitundu 98.4 ku 100 byafunye enkalala okwetooloola eggwanga, kyokka waliwo ebifo ebisukka mu 600 ebitaafunye nkalala zaabyo.

Kyokka ekizibu kino bakikolako era akakiiko kagumizza abantu nga bwe bajja okuweebwa ennaku ezaabwe 21 bakebere amannya gaabwe.

Ebifo ebitaafunye nkalala kuliko disitulikiti y’e Wakiso erimu ebifo 15, Mukono ebifo 32, Mpigi (46), Mityana (320), Masaka City-(2), Mbarara City (48), Kampala (18), Kassanda (2), Buvuma (1), Buikwe (1) n’ebifo ebirala. 

Ku bifo ebyafunye enkalala, Byabakama yasabye abalonzi bagende bakebere amannya gaabwe bakakase nga gakwatagana bulungi n’obufaananyi bwabwe n’ebibakwatako ebirala. Balina n’okuloopa amannya g’abaafa gaggyibwemu awamu n’abo abatannaweza myaka 18. Okwekebejja kukomekkerezebwa May 15, 2025.

Okuva May 16 okutuusa nga May 26, 2025, bajja kutimba amannya g’abo abalina okuggyibwa ku nkalala oba okwongerwa mu nkalala ku buli muluka.

Kino kikoleddwa okuwa omukisa eri oyo yenna erinnya lye eriyinza okuba nga lirabikidde kw’ago agagenda okusangulwa mu nkalala okwekubira enduulu.

Abantu abaagala okubeera bakalabaalaba b’akalulu ka bonna aka 2026, basabiddwa okuteekamu okusaba kwabwe ng’obudde bukyali.

Byabakama yasambazze ebya disitulikiti empya ezigambibwa okubeera nga zaatondeddwaawo mu bitundu by’e Teso ne Tororo n’ategeeza nti, tebannafuna kutegeezebwa kwonna mu butongole. 

Ku nsonga y’omuwendo gw’abalonzi abali mu ggwanga, akakiiko kaasabye babaweemu obudde bamale okutereeza enkalala olwo balyoke babuulire eggwanga omuwendo omutuufu.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});