Eyakubye muganzi we ng'amukwatidde mu bwenzi gumusse mu vvi
Jan 03, 2024
OMUSAJJA eyakakkanye ku muganzi we n’amuwumiza kwossa n’okwonoona essimu gye yali ayogererako ng’akola obwenzi gumusse mu vvi, kkooti e Mengo emusindise mu kkomera e Luzira nga bw’alinda ekibonerezo ekinaamuweebwa.

NewVision Reporter
@NewVision
OMUSAJJA eyakakkanye ku muganzi we n’amuwumiza kwossa n’okwonoona essimu gye yali ayogererako ng’akola obwenzi gumusse mu vvi, kkooti e Mengo emusindise mu kkomera e Luzira nga bw’alinda ekibonerezo ekinaamuweebwa.
William Makanga 37, mutuuze w’e Nateete Factory Zzooni mu Munisipaali y’e Lubaga y’asimbiddwa mu kaguli ka kkooti ya Nateete Lubaga e Mengo, Omulamuzi Adams Byarugaba n’amusomera emisango ebiri okubadde ogw’okutuusa obuvune obw’amanyi ku Janat Namara ssaako n’okwonoona essimu ye gyonna n’agikkiriza era ne gimusingisibwa.
Makanga ne Namara baludde mu mukwano ogw’okusika omuguwa ng’omusajja alumiriza muganzi we okubaamu omuze gw’embaliga nga kiteeberezebwa abadde akyapepeya n’omusajja gwe yayawukana naye ekirudde nga kibobbya Makanga omutwe.
Nga December 28, 2023 e Nateete, abaagalana bano baali mu maka gaabwe wabula buli omu abadde akola bibye mu nnyumba olw’ensonga nti baali bafunamu obutakkaanya nga tewali anyega munne nga balinze lunaku lwe banaayawukana mu butongole buli omu akwate gage.
Mu kiseera ky’amalya g’ekyemisana ku olwo, Makanga yali mu kinaabiro ng’ayoza ngoye n’awulira Namara ng’ayogera ku ssimu mu kisenge n’amulumbayo n’amuwumiza agakonde n’ensambaggere kw’ossa n’essimu gye yali ayogererako okugibetenta.
Omukazi yakuba enduulu eyasomboola abatuuze abaakungaana ne bakwata Makanga ng’ataamye bugo era bwe yakwatibwa n’atwalibwa ku Poliisi e Nateete n’aggulwako emisango gino ku ffayiro CRB; 027/2024.
Byonna ebyamusomeddwa yabikkirizza wabula n’ategeeza kkooti nti okumanya omukazi oyo mujoozi, yakwata ekifaananyi ky’omusajja gwe yayawukana naye n’akissa ku ssimu mu ngeri y’okumusomooza era nga kino kirudde ng’akimulabula.
Yannyonnyodde nti teyakoma ku kifaananyi wabula n’okumukubiranga amasimu buli olukedde kyokka nga basula mu nnyumba emu, yagambye nti yalabye kimususseeko naye kwe kukwatibwa obusungu n’amukuba.
Namara yategeezezza nti ku olwo yali ayogera na nnyina mu kyalo ng’amukulisa ennaku enkulu kyokka ate oluvannyuma yeetemye engalike n’ategeeza nti yali ku mukutu gwa TikTok Makanga n’amukuba awatali nsonga.
Omulamuzi Byarugaba yasindise Makanga mu kkomera okutuusa nga January 25, 2024 lw’agenda okumuwa ekibonerezo.
No Comment