MUNNAYUGANDA nkubakyeyo okuva mu America ali mu kattu ng’agamba nti kojja we ayagala kumunyagako ttaka lye. Tonny Lukongwa 43, alumiriza ba kkojja be, Gabriel Kintu ne Peter Mukasa okumwefuulira nga baagala okumunyagako ettaka lye erisangibwa e Kabuusu mu munisipaali y’e Lubaga.
Ettaka lino lyali lya mugenzi Joseph Mukasa, era bwe yafa abaana ne beegabanya, abasinga ne batunda. Mu mbeera eno Lukongwa agamba nti yagula ku kojja we Anthony Lubowa mu 2009 era ekifo kye n’asooka nga bw’anoonya ez’okukikulaakulanya.
Yagambyenti bwe yakomyewo mu December w’omwaka oguwedde ng’ayagala okubaako kya kolera mu kifo kyeate ba kojja Kintu ne Mukasa ne bamugaana nti yaligula mu bukyamu. Kintu yannyonnyodde nti kitaabwe Joseph Mukasa yabazaala