Ebibuuzo 10 ebyebuuzibwa mu kwegeza mu kutta Paasita Bugingo

Jan 05, 2024

OKWEGEZA mu kutta Paasita Aloysious Bugingo okwavuddeko n’okufa kw’omukuumi we, Corporal Richard Muhumuza, kuliko ebibuuzo 10 ebirina ansa entono eziriwo kati okuggyako ng’abeebyokwerinda bongeddemu amaanyi okuziggusa.

NewVision Reporter
@NewVision

Bya Josephat Sseguya ne Patrick Kibirango

OKWEGEZA mu kutta Paasita Aloysious Bugingo okwavuddeko n’okufa kw’omukuumi we, Corporal Richard Muhumuza, kuliko ebibuuzo 10 ebirina ansa entono eziriwo kati okuggyako ng’abeebyokwerinda bongeddemu amaanyi okuziggusa.

Kigambibwa nti abazigu baateeze Paasita Bugingo e Namungoona ne bakuba amasasi mu mmotoka ye agasse omukuumi we Muhumuza. Olwo Bugingo yabadde ku Bawalakata Road oluva e Kasubi okudda e Nansana nga lw’akozesa bw’aba adda ewuwe e Namayumba mu disitulikiti y’e Wakiso gy’asula.

Paasita Bugingo Ng’abuuza Balaamu . Henry Basaliza Minisita W’obwakabaka Bwa Toro, Henry Mawanga Omubaka Wa Igara East Ne Bebe Cool.

Paasita Bugingo Ng’abuuza Balaamu . Henry Basaliza Minisita W’obwakabaka Bwa Toro, Henry Mawanga Omubaka Wa Igara East Ne Bebe Cool.

Abazigu okukuba amasasi mmotoka ya Bugingo ekika kya Lexus enjeru erina ennamba y’erinnya lya PRAIZE GOD kigambibwa nti yabadde ku kagulumu era ng’ekendeezezza ku misinde, olwo omusajja eyabadde ayambadde ekikooti ekiddugavu nga kiriko n’akakoofiira ng’ataddeko ne gaalubindi enzirugavu n’akuba amasasi munda mu mmotoka agasse Muhumuza.

Okuva enjega eno bwe yaguddewo ku Lwokubiri ekiro, ebibuuzo bingi ebikyebuuzibwa poliisi kyokka ebirala bantu ba bulijjo be babyebuuza.

Naye nga bwe beebuuza ebibuuzo, buli omu asaanye okujjukira nti embeera yonna ng’erimu okubwatuka kw’amasasi ate ne gatta n’omuntu nga bw’olaba Muhumuza eyabadde ne Bugingo mu mmotoka, kitiisa ng’osobola n’okukola kyonna mu kadde ako mu ngeri ya kiwalazima.

 

KYOKKA EKYO TEKIGGYAAWO BIBUUZO BINO WAMMANGA

1. Kijja kitya nti Bugingo amanyi n’amateeka ga poliisi ag’obutataataaganya kifo awabadde ekintu ng’ettemu ekyetaaga okunoonyerezebwako ennyo ate yaggyeewo mmotoka eyabaddemu attiddwa ?

2. Emmotoka ya Bugingo gye yabaddemu, Lexus nnamba eriko PRAIZE GOD, essaawa eno eriwa? Eri mu mbeera ki, erimu ebituli by’amasasi oba nedda. Amasasi amatuufu gaabadde ameka. Gaabadde 10, 13, 15 oba 17 ng’abamu bwe boogera era abaakoze obulumbaganyi obwo, baabadde bameka?

3. Abatemu bajjiridde Paasita Aloysious Bugingo oba bajjiridde Muhumuza eyattiddwa?

4. Muhumuza yabadde n’emmundu mu kadde we baabakubidde amasasi oba nedda?

5. Bw’aba yabadde n’emmundu, kiki ekyabaddewo mu kugezaako okwerwanako n’okutaasa mukama we Bugingo oba baabeesoose n’abeekanga nnyo n’atasobola kwanukula nga bwe kyali ku baali baagala okutta Gen. Katumba Wamala mu 2021 omukuumi we n’agezaako okubaanukula.

6. Bwe kiba nti Muhumuza abadde mukuumi wa Bugingo ate nga y’omu akola guno na guli mu kkanisa ye eya House of Prayer ministries era ng’olumu abadde atera n’okukola nga ddereeva we, lwaki ku luno si ye yamuvuze? Abamu babadde bamuyita na mukadde wa kkanisa ng’abamu ku beebuuzibwako baakitegedde ku olwo nti abadde muserikale wa SFC.

7. Okutta Muhumuza eyabadde atudde mu kifo Bugingo w’atera okutuula mu mmotoka eyo, tugambe nti kitegeeza nti Bugingo gwe baabadde baagala oba gwe basse baabadde bamutegedde bulungi nti y’oyo Muhumuza ne we yabadde atudde nga baamulabye. Era Bugingo bwe yabadde asimbula ku Salt mu kiro ekyo ku Lwokubiri, ani gwe yasembye okwogera naye mu buntu oba ku ssimu?

8 .Bwe kiba nti baabadde baagala kutta Muhumuza, ekituufu ekimussa kiki?

9. Bwe kiba nti baabadde baagala kutta Bugingo olwo naye ekituufu ekyabadde kimussa kye kiki?

10. Baani abo Bugingo be yayogerako ng’omwaka oguwedde guggwaako nti baali tebaagala agumaleko. Yakola sitetimenti okubaloopa oba nedda. Bw’aba yaloopa, abeebyokwerinda baakolawo ki?. Era yaloopa baani?. Bw’aba teyaloopa, lwaki teyaloopa?

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});