Poliisi esunsuddemu abaasaba okugyegattako basobole okutwalibwa okutendekebwa.
May 01, 2025
Enteekateeka eno yatandise ku Mmande mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo nga mu Kampala yatandikidde ku ttendekero lyayo e Kibuli, ku Lwokubiri baabadde ku poliisi ya Kira Road ate ku Lwokusatu ne bakung’aanira ku ssomero lya Kawempe Mbogo Primary School.

NewVision Reporter
@NewVision
POLIISI esunsuddemu abaasaba okugyegattako basobole okutwalibwa okutendekebwa.
Enteekateeka eno yatandise ku Mmande mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo nga mu Kampala yatandikidde ku ttendekero lyayo e Kibuli, ku Lwokubiri baabadde ku poliisi ya Kira Road ate ku Lwokusatu ne bakung’aanira ku ssomero lya Kawempe Mbogo Primary School.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yagambye nti abantu 47,000 be baasaba okwegatta ku poliisi mu ggwanga lyonna, ne basunsulamu omulundi ogwasooka ne basigaza 16,000.
Oluvannyuma lw’okusunsulamu abaayiseemu baayitiddwa okugezesebwa mu bintu eby’enjawulo omuli okusooka okudduka kiromita 5 oluvannyuma ne batuula ebibuuzo eby’okuwandiika, abasawo ba poliisi ne babeekebejja okuzuula oba obulamu bwabwe buli mu mbeera nnungi.
Yagambye nti, poliisi yateekawo ebisaanyizo eri abo abaagala okugyegattako nga balina okuba n’ebbaluwa ‘obuyigirize eya S4.
Mu kusunsulamu waliwo abaasangiddwa n’empapula enjingirire ne batwalibwa ku poliisi babitebye.
Yagambye abanaayita mu kusunsulamu kwonna amannya gaabwe gaakutimbibwa ku poliisi gye baatwala empapula zaabwe nga basaba .
Ku Lwokusatu baabadde ku ssomero lya Kawempe Mbogo Primary School.
No Comment