NUP egenda mu kkooti ku bya Eddy Mutwe
Apr 30, 2025
MUNNAMATEEKA wa National Unity Platform (NUP) Samuel Muyizi alangiridde nga bwe bagenda okuddukira mu kkooti eragire ebitongole by’ebyokwerinda okuleeta Edward Ssebuufu amanyiddwa ennyo nga Eddy Mutwe mu mbeera yonna mw’ali.

NewVision Reporter
@NewVision
MUNNAMATEEKA wa National Unity Platform (NUP) Samuel Muyizi alangiridde nga bwe bagenda okuddukira mu kkooti eragire ebitongole by’ebyokwerinda okuleeta Edward Ssebuufu amanyiddwa ennyo nga Eddy Mutwe mu mbeera yonna mw’ali.
Kiddiridde bannamateeka ba NUP okulemererwa okuzuula Eddy Mutwe agambibwa okubuzibwawo wiiki ewedde bwe yali mu bitundu by’e Mukono.
Muyizi yategeezezza nti batuukiridde ebitongole by’ebyokwerinda ebyenjawulo bukya bafuna amawulire g’okubuzibwawo kwa Eddy Mutwe nga y’akulira eby’okwerinda bya Pulezidenti w’ekibiina kya NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine), kyokka babategeeza nti tebamulina.
Muyizi yagambye nti wadde ebitongole by’ebyokwerinda bikyegaana kyokka bakakasa nti be bamulina era balina essuubi nti kkooti bw’eneeyisa ekiragiro kino bajja kuwalirizibwa okumuleeta. Kigambibwa nti abaatwala Eddy
Mutwe baamuteeka mu mmotoka eyaazibwako erya Drone.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Greater Masaka, Twaha Kasirye yategeezezza nti wadde tebannategeezebwa baakutte Mutwe, naye baludde nga bamunoonya ku misango gy’okukuba abantu n’okubabba ebyakolebwa omwaka oguwedde mu kuziika omugenzi Ssekasamba e Kisekka
No Comment