Eyavumye Nnyazaala we n'amuweebuula asimattuse empewo y'ekkomera

Jan 06, 2024

OMUKAZI agambibwa okukakkana ku nnyazaala we n’aweebuula ng’amuvuma kwossa n’okwasa endabirwa z’ennyumba ye asimattuse ekkomera, akakiddwa okumwetondera mu lujjudde lwa kkooti wabula mu bulumi obw’amaanyi nga n’amaziga akulukusa!

NewVision Reporter
@NewVision

OMUKAZI agambibwa okukakkana ku nnyazaala we n’aweebuula ng’amuvuma kwossa n’okwasa endabirwamu z’ennyumba ye asimattuse ekkomera, akakiddwa okumwetondera mu lujjudde lwa kkooti wabula mu bulumi obw’amaanyi nga n’amaziga akulukusa!

Sofia Najjuuko 35, mutuuze w’e Nansana Masitoowa mu Wakiso y’asimattuse e Luzira oluvannyuma lw’okusimbibwa mu kkooti ya Nateete Rubag e Mengo n’avunaanibwa emisango esatu okubadde ogw’okwonoona ebintu, okutiisatiisa omuntu ssaako n’okukozesa obubi essimu wabula omulamuzi Adams Byarugaba yakkiriza okweyimirirwa kwe n’ayimbulwa.

Kigambibwa nti nga August 7, 2023, Najjuuko n’abaana be, baagenda mu maka g’omukadde Juliet Nalweyiso (79) ng’ono Nazaala we ng’amulumiriza okutunda ekibanja ky’abaana be kitaabwe atamanyiddwa gye yalaga kye yabalekera.

Wakati mu kavuvungano nga balemeddwa okukkaanya, Najjuuko yakwata ejjinja okulikuba omukadde naye bwe yalyewoma, ne likwata eddirisa ly’ennyuma ne lyatika. Ono yagenda mu maaso n’okumutiisatiisa okumukuba singa tava ku kibanja kino.

Najjuuko teyakoma okwo era wakati wa August 8 ne 13, 2023 mu kiro, yakwatanga essimu n’akubira Nazaala we n’ayongera okumutiisatiisa okumukuba n’okumutuusako obuzibu.

Omukadde Nalweyiso yalaba guli gutyo kwe kwekubira enduulu ku poliisi ya Kampalamukadde Najjuuko n’aggulwako emisango egyo ku CRB; 1894/2023 okutuusa lw’aleeteddwa mu kkooti ne gimuvunaanibwa.

Emisango gyonna yagyegaanyi era n’asaba okweyimirirwa omulamuzi n’akkiriza ku kakalu ka bukadde bubiri ezitali zaabuliwo n’alagirwa okudda mu kkooti nga February 14, 2024 guddemu.

Waabaddewo akanyoolabikya nga kitaawe wa Najjuuko amulagira okwetondera Nazaala we naye yasoose kugaana ng’agamba omukadde ayitirizza okumusibisa bakira kitaawe ayagala kumuyisaamu mpi wabula oluvannyuma wakati mu maziga yafukamidde ne yeetonda naye ng’okwetondakwe kwalabise ng’okutaavudde ku mutima!

Omukadde Nalweyiso yakkiriza okwetonda kwe wabula kkooti n’ekuutira Najjuuko obutaddamu kulinnya mu luggya lwa Nazaala we okutuusa ng’afunye olukusa.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});