Amawulire

Poliisi etaddewo obukadde 20 eri anaazuula abaabadde baagala okutta Paasita Bujjingo

Poliisi etaddewo obukadde 20 eri oyo yenna , anazuula abantu abali emabega w'okugezaako okutemula Paasita Aloysius Bujjingo n'okutta omukuumi we Richard Muhumuza wamu n'emmundu eyakozesebwa.

Poliisi etaddewo obukadde 20 eri anaazuula abaabadde baagala okutta Paasita Bujjingo
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Poliisi etaddewo obukadde 20 eri oyo yenna , anazuula abantu abali emabega w'okugezaako okutemula Paasita Aloysius Bujjingo n'okutta omukuumi we Richard Muhumuza wamu n'emmundu eyakozesebwa.

Mu ngeri y'emu era ekitongole ekivunaanyizibwa mu kubuuliriza ekya Special Investigations Unit, kyeddiza  okubuuliriza n'okunoonyereza ku musango guno.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agambye nti emmundu eyakozeseddwa mu ttemu lino, eriko akakwate n'eyo eyatemula omugenzi Isma Olaxes so ng'era n'enkola kumpi yali y'emu.

 Enanga ayongeddeko nga bwe bataddewo ennamba y'essimu nnamba 0741111333 eri oyo yenna alina amawulire ku ttemu lino.

Tags:
Paasita Aloysius Bujjingo