Amawulire

KCCA esse omukago n'abawagira enkulaakulana y'ekibuga

Olw'okuba gavumenti eyinza obutavuggirira mirimu gyonna egirina okkolebwa ekitongole kya KCCA, kiwalirizza abakulira ekitongole kino okwongera okutta omukago nabo okusobola okukulaakulanya Kampala, mu nsonga z'ebyengiririza, eby'obulamu, eby'obulambuzi, saako eby'entambula.

Dorothy Kisaka akulira KCCA ng'ali ne bannamikago
By: Stuart Yiga, Journalists @New Vision

Olw'okuba gavumenti eyinza obutavuggirira mirimu gyonna egirina okkolebwa ekitongole kya KCCA, kiwalirizza abakulira ekitongole kino okwongera okutta omukago nabo okusobola okukulaakulanya Kampala, mu nsonga z'ebyengiririza, eby'obulamu, eby'obulambuzi, saako eby'entambula.
Mu mwaka 2023, KCCA yatta omukago n'abekitongole kya UNDP,  ne babawa ssente ezaakozesebwa mu kubunyisa amataala mu butale obuli wansi wa KCCA, okuddaabiriza amasomero, wamu n'enguudo.
KCCA egamba nti yafuna ssente okuva mu bbanka ya Standard Chartered, ezeeyambisibwa mu musomesa bannakampala okuva mu Miruka 99, ab'okuganyulwa mu ssente z'okwekulaakulanya ku Miruka ezimanyiddwa nga PDM.
Ekitongole kyeyongera ne kifuna obuyambi bw'emiti akakadde kamu, okuva mu kitongole ky'obwannakyewa ekya Private Sector Foundation, n'ekigendererwa eky'okufuula Kampala ekibuga ekya kiragala kyongere ku bungi bw'omukka ogw'obulamu.
Minisita wa KCCA era gyebuvuddeko yasakira ekitongole kino ssente z'okutegeka emikolo gy'okujjukira abaafa ekirwadde kya ssenyiga omukambwe (COVID-19)
Mu mwaka 2024, Kisaka yategeezezza nti balina esuubi nti ekitongole kijja kweyongera okufuna obugabirizi obw'enjawulo, okusobola okutambuza emirimu gyakyo nga tebakutte ku ssente zibaweebwa mu mbalirira ya gavumenti.