EBY’OBULUMBAGANYI obugambibwa okukolebwa ab’emmundu ku Paasita Aloysious Bujjingo, omwafiiridde omuyambi we Richard Muhumuza bikyagulumbya Poliisi bw’etaddewo obukadde 20 eri omuntu yenna anaagiwa amawulire ku bulumbaganyi buno.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yagambye nti ekitebe kya CIID ekinoonyereza ku misango kyeddizza fayiro ya Bujjingo okuva ku banoonyereza ku misango mu Kampala n’emiriraano n’agamba nti kino kikoleddwa okusobola okunoonya obujulizi mu musango
Yagambye nti ffayiro eno ku kitebe e Kibuli yakwasiddwa abakugu mu kunoonyereza nga kwa kukulemberwamu abaserikale abakolera wansi w’ekitongole kya Special Investigations Divison (SID) ekikulemberwa D|ACP Mark Odong ekyali kituula e Kireka wabula ne kitwalibwa e Kibuli.
Yategeezezza nti mu kunoonyereza ku ffayiro ya Bujjingo, poliisi yayungudde abaserikale baayo abalina obukugu mu kunoonyereza era nga balina sitetimenti ze baggye ku bantu, okufuna lipoota zonna ezaakolebwa omuli eyava ew’omusawo wa poliisi eyeekebejja omulambo gwa Cpl. Muhumuza ng’ono yakubwa amasasi ng’ali mu mmotoka ne Paasita Bujjingo, ebifaananyi n’entambi ebyakwatibwa kkamera za poliisi n’ez’obwannannyini wamu ne lipoota okuva mu bakugu.
Enanga yagambye nti era mu kuffeffetta abazigu b’emmundu abaalumba Paasita Bujjingo ne basindirira mmotoka ye amasasi agatta omukuumi we Cpl. Muhumuza, poliisi yaakweyambisa obusobozi bwayo bwonna omuli tekinologiya n’ebitongole byayo n’okukwatagana n’abantu baabulijjo.
Yagambye nti mu kukwatagana n’abantu baabulijjo mu kugiyambako mu kunoonyereza, mwe yateereddewo ssente obukadde 20 eri omuntu alina amawulire aganaabatuusa ku bazigu.
Yategeezezza nti era abalina amawulire agakwata ku bazigu basobola okutuukirira poliisi ku nnamba 0741111333 oba okutuukirira poliisi ne bagibuulira mu buntu.