ABEEBYOKWERINDA bakunyizza abakuumi ba Paasita Aloysious Bujjingo owa House of Prayer Ministries ku by’obulumbaganyi obwamukolebwako.
Abeebyokwerinda baasoose kuyita eyali aduumira abakuumi be, Simon Peter Kaswabuli amannyiddwa nga (Simon Waltch) ku kitebe kya bambega b’amagye e Mbuya ku (CMI) ng’eno yamazeeyo olunaku lulamba ng’abaserikale bamubuuza ku by’obulumbaganyi ku Paasita Bujjingo eyali mukama we.
Amagye ge gaasoose okumukunya oluvannyuma ne bamukwasa bambega ba poliisi nabo okwongera okubaako bye bamubuuza.
Kaswabuli yategeezezza Bukedde nti yakolagana ne Bujjingo okumala emyaka 13 nga tebalina buzibu okutuusa bwe baamuwa emirimu gya gavumenti n’alyoka agenda.
Abakuumi baabaggye ku kkanisa ya Bujjingo esangibwa e Makerere Kikoni ne batwalibnwa e Mbuya oluvannyuma lw’okukola sitetimenti ne babata ku kakalu ka poliisi.
Wabula bwe bazzeeyo e Kireka ku Mmande, baabaggyeeko amabaluwa kwe baabaweera akakalu ne balagirwa okudda ewaabwe.
Poliisi yayongezzaayo ekirabo ky’obukadde 20 obwassibwawo ku muntu anaabatwalira amawulire agabatuusa ku muntu eyeenyigira mu bulumbaganyi omwafiira munnamagye Richard Muhumuza.