Bya Godfrey Kigobero
Eyali Munnamawulire wa Radio Uganda okumala ebbanga era munnabyabufuzi, Al-Hajji Abdul Nsereko Nsereko afudde.
Nsereko yasooka kukola ku Radio Uganda n'oluvannyuma eyafuuka Uganda Broadcasting Services (UBC) mu bifo eby'enjawulo omuli n'okuba dayirekita.
Ono afudde ku ssaawa nga 7:00 ek’ekiro ekikeesezza Olwokusatu okusinziira ku mutabani we era omubaka wa Kampala Central mu Palamenti, Muhammad Nsereko bwe yategeezezza.
Agambye nti kitaawe nti atawaanyizibwa obulwadde bwa ssukaali naye ate tabadde tali bubi era yasembye okwogera naye eggulo nga mulamu bulungi era kimwewuunyisizza okufuna amawulire g’okufa kwe
Mu kiseera kino abantu ab'enjawulo, bakyagenda mu maaso n'okutendereza egimu ku mirimu egikoleddwa Omugenzi Al Haji Abdul Nsereko eyafudde ekiro ekikeesezza leero.
Omugenzi Nsereko yaliko omukozi wa Radio Uganda, yaliko omubaka wa gavumenti , kw'ossa n'emirimu emirala gy'azze akola ng'eyo abawerako gye baamulabira n'abayigiriza n'okubayamba, nabo okugikola obulungi.
Omu ku bbo ye Charles Kalooli Sseruga Matovu mukozi munnaffe wano, ku Bukedde TV , agambye nti Nsereko yamuyamba kinene nnyo okufuuka ky'ali mu kiseera kino.
Ategeezezza nti Al Haji Nsereko, y'omu ku bantu abaamwaniriza nga yaakatuuka ku Radio Uganda era n'akola kinene nnyo okumusobozesa okuyiga enkola y'emirimu mu kitongole ekyo.