Empaka za AFCON 2023 ziggulwawo leero
Jan 13, 2024
LEERO ku Lwomukaaga nga January 13, empaka z'Omupiira gw'Amawanga ga Africa eza Africa Cup of Nations ez'omulundi ogwa 34 lwe zitandika.

NewVision Reporter
@NewVision
LEERO ku Lwomukaaga nga January 13, empaka z'Omupiira gw'Amawanga ga Africa eza Africa Cup of Nations ez'omulundi ogwa 34 lwe zitandika.
Bannyinimu abakyazizza empaka zino aba Cote d'Ivoire (Ivory Coast) be bookuggulawo nga bazannya ne Guinea-Bissau ku ssaawa 5:00 ez'ekiro (11:00pm).
Empaka zino zaali zitegekeddwa nga zaakubeerawo mu July wa 2023 kyokka zaayongezebwayo olw'obutakuubagana na za Wold Cup ne ziteekebwa mu January ono kyokka ne zisigaza erinnya erya AFCON 2023 wadde za kuzannyibwa mu 2024.
Côte d'Ivoire guno gwe mulundi gwayo ogwokubiri ng'ekyaza ekikopo kino kye yaakawangula emirundi ebiri omuli 1992 ne 2015 nga ku mirundi gyombi yawangula Ghana.
Omupiira oguggulawo gwa kubeera mu kisaawe kya Ébimpé Alassane Ouattara stadium nga awamu empaka za kwetabamu ttiimu z'amawanga 24 ezaasengekebwa mu bibinja mukaaga (6) omuli ne bannantameggwa baakyo aba Senegal.
Abantu abasoba mu kakadde kamu mu emitwalo 50 be basuubirwa okulaba omubiira guno e Côte d'Ivoire okuli abanaabeera ku kisaawe, abanaakung'aana ku ntimbe mu bibangirizi eby'enjawulo n'awalala.
Emipiira gya AFCON 2023 gya kuzannyirwa mu bibuga bitaano (6) omuli ekikulu ekya Yamoussoukro n'ekya Abidjan.
Gavumenti ya Ivory Coast yalangiridde dda nti mu kutegeka empaka zino etaddemu ssente eziri eyo mu kakadde ka Doola kamu mu emitwalo 60.
No Comment