Amawulire

Obubbi bw'ebinazi busattiza ab'e Kalangala

Abalimi b’ebinazi e Kalangala bali mu kattu era basula bakukunadde nga lumonde mu kikata olw’obubbi bwe binazi ebiba bikunguddwa okweyongera

Obubbi bw'ebinazi busattiza ab'e Kalangala
By: Nkuba Samuel, Journalists @New Vision

Abalimi b’ebinazi e Kalangala bali mu kattu era basula bakukunadde nga lumonde mu kikata olw’obubbi bwe binazi ebiba bikunguddwa okweyongera.

Bino okusinga babibba kiro era bitikkibwa mu bisero n’e bissibwa ku bodaboda ez'enjawulo so nga ate ebimu biteekebwa mu bbuutu z’emotoka zabuyonjo.

Abenyigira mu bubbi buno be balimi abamu abatamatira n’ekyo kyebalina n’e baagala okufunamu ennyo okusinga abalala.

Bino bisangibwa ku bipimiro abalimi webaba babireese olw’ebbula ly’emotoka ezibitambuza okubituusa ku kampuni gyebitundibwa.

Mu kiseera kino aba Kalangala Oil Palm Growers Trust (KOPGT) balina emmotoka 56 nga kuliko n’ezobwannanyini ezisomba ebinazi by’abalimi abassuka mu 1800 abakungula buli luvannyuma lwa ssabbiiti bbiri.  

Abalimi bafirizibwa ensimbi eziri mu bukadde olw’ebinazi okulwaawo ku nnimiro kubanga ebimu byeveera kyokka ebirala n’e bibbibwa. Kino kitekeddwa ku motoka ezibisomba okubeera entono mu kiseera kino.

“Twasazeewo kusula nga tubikuuma n'amajambiya okutuuka emmotoka lwezibitikka okubitwala ku fakitole,” Jona Ayesiga omu kubalimi bwategezezza.

Ssaalongo David Balironda akulira abalimi mu kibiina kyabwe ekya Kalangala Oil Palm Growers Trust (KOPGT) agamba nti ekinamalwo obubbi n’okufirizibwa kyekisuubizo ky’omukulembeze w’eggwanga kyeyakola mu 2023 eky’okubawa emmotoka ezibisomba amangu.

“Tulina enkola endala mwetuyita naddala eya akakiiko akakwasisa empisa mwetulondolera amakungula gabalimi abenjawulo era gwetusanga nga obunji bwakungudde businga ebyo ebirina okuva mu nimiro, tutandika okumunonyerezaako,” Balironda

Ayongeddeko nti buli muluka omukulembeze yagusubiza emmotoka enetambuzanga ebinazi byaabwe mu budde bwebaba babikunguliddemu okubituusa ku mills gyebikamulirwa.

Nnaalongo Eva Kwesiga omubaka wa Pulezidenti e Kalangala agamba nti obubbi buno buleseewo obutali butebenkevu mu bitundu ebyenjawulo era nga waliwo okutya nti abantu banditandika okutemagana amajambiya nga bakuuma.

Mu kiseera kino emisango gyokubba ebinazi egyisukka mw’etaano gyejiri mukuwulirizibwa mu kooti e Kalangala so nga ate emisango esatu gyejiroopebwa buli wiiki ku Police saako n’e mu KOPGT.