Vitality Netball Nations Cup
Australia – New Zealand (12:00)
Bungereza – Uganda (2:00)
Enkya Ssande
New Zealand – Uganda (11:00)
Bungereza – Australia (1:00)
LEERO (January 20, 2024) She Cranes ttiimu y’eggwanga ey’okubaka lw’etandika ku lugendo lw’okulwanira ekikopo ky’empaka za Vitality Netball Nations Cup mu kibuga London ekya Bungereza.
Bali ku kisaawe kya Ovo Arena Wembley nga battunka ne Bungereza abategesi b’empaka zino nga Uganda enoonya wiini esookera ddala mu byafaayo ku England Roses eya Bungereza gyetawangulangako.
Ku Lwokusatu lwa wiiki eno enkambi ya She Cranes y’azzeemu ebbugumu, bassita baabwe babiri okuli; Haniisha Muhameed ne Peace Proscovia abazannyira mu Surrey Storm mu liigi yababinywera eya Bungereza (Vitality Netball Super League) bwe babeegasseeko.
Bano baali basuubirwa okubeera ne ttiimu mu nsiike ez’omukwano essatu She Cranes ze babaddemu wiiki ewedde ne Wales mu kibuga Cardiff, wabula tebaasobola.
Peace Proscovia abadde kapiteeni wa She Cranes okuva 2014 okutuusa 2022, omulundi guno azze mu nkambi ng’omumyuka w’omutendesi era agumizza abawagizi nti ennaku essatu z’abadde ne She Cranes, abazannyi bonna bali bulungi ate bamalirivu okufiira ku Bungereza.
“Tusobola nnyo okuwangula ttiimu zino ezeemanyi nti zi kirimmegga, abazannyi baffe bonna tubagezesezza ekimala era leero musuubire embiranyi ey’amaanyi, Bungereza egenda kusanga akaseera akazibu,” Peace Proscovia bwe yategeezezza.
She Cranes yayitiddwa nga ttiimu eng’enyi omulundi ogusookedde ddala okuzannya mu mpaka zino ezeetabwamu ensi essatu esinga mu nsengeka z’omuzannyo guno mu nsi yonna (Australia, New Zealand ne Bungereza).