Amawulire

She Cranes ekomyewo mu nsiike ng'enoonya kwesasuza Wales

LEERO Lwakutaano (January 12, 2024), She Cranes ttiimu y’eggwanga ey’okubaka ekomyewo mu nsiike eyookubiri ey’omukwano nga badding’ana ne Welsh Feathers eya Wales.

She Cranes
By: Gerald Kikulwe, Journalists @New Vision

International Netball Series 2024

Wales – Uganda (1:00 akawungeezi)

LEERO Lwakutaano (January 12, 2024), She Cranes ttiimu y’eggwanga ey’okubaka ekomyewo mu nsiike eyookubiri ey’omukwano nga badding’ana ne Welsh Feathers eya Wales.

Bali ku kisaawe kya Clos Parc Morgannwg mu kibuga Cardiff mu Bungereza nga Uganda eyagala kwenunula oluvannyuma lwa Wales okubakuba (57-45) mu nsiike eyasoose (January 10, 2024).

Wales ebadde yasemba okuwangula Uganda (64-41) mu nsiike eyali ey’okulwanira ekifo ekyo 7 mu World Netball Cup (2015) mu kibuga Sydney ekya Australia era She Cranes yamalira mu kya 8. Mu mpaka ze zimu Wales yasooka kumegga Uganda (49-47) mu gy’ekibinja D mwe basooka okuvuganyiza.

She Cranes

She Cranes

Okuva kw’olwo ensisinkano ettaano eziddiridde okuva 2015, Uganda zonna eziwangudde. Yabakuba (76-40) mu gya Commonwealth 2018, yabazzeemu (64-46 ne 56-47) mu za International Netball Series 2022 ate yabazze mu biwundu (73-56) mu World Netball Cup e South South Africa 2023 Uganda bwe yamalidde mu kifo kyakutaano.

Enkya (January 13, 2024) lwe bakomekkereza ensiike essatu ez’omukwano (Wales International Netball Series 2024) bwe banadding’ana ogwokusatu ku kisaawe kye kimu ekya Clos Parc Morgannwg Cardiff.

Wiiki ejja wakati wa January 20 ne 28, Uganda ejja kwetaba mu mpaka za Vitality Netball Nations Cup gy’egenda okuttunkira ne Bungereza, New Zealand ne Australia mu kaweefube w’okulinnya mu nsengeka. Mu kiseera kino Uganda ekwata kifo kya 7 mu nsengeka z’okubaka mu nsi yonna.

Ensengeka bwe ziyimiridde kati

Australia – 8874 – 206

New Zealand – 9332 – 194

Bungereza – 8766 - 183

Jamaica –7845 – 182

South Africa – 8956 – 157

Malawi – 6173 – 129

Uganda – 5102 – 124