Amawulire

Abasumba basisinkanye Paapa ne bamwanjulira alipoota y’Eklezia mu Uganda

ABASUMBA b’Eklezia mu Uganda 17, basisinkanye Paapa ne bamwanjulira ebituukiddwako mu myaka etaano ne byebateekateeka okukola mu myaka etaano egijja.

Abasumba abaagenze e Vatican nga bali mu ne Paapa Leo XIV(mu byeru).
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

ABASUMBA b’Eklezia mu Uganda 17, basisinkanye Paapa ne bamwanjulira ebituukiddwako mu myaka etaano ne byebateekateeka okukola mu myaka etaano egijja.
Bano abeegattira mu kibiina kya Uganda Episcopal Confrence (UEC) abaakulembeddwamu ssentebe waabwe omusumba w’Essaza ly’e Mityana, Dr. Joseph Anthony Zziwa beevumbye akafubo ne Paapa Leo XIV ne bamwanjulira ebigenda mu maaso mu masaza gaabwe ne alipoota z’ebitongole eby’enjawulo.
Omusumba Zziwa bwe yabadde ayogerako eri Bannayuganda ababeera e Roma ng’ali wamu n’abasumba abalala okuva mu Uganda okwabadde Ssaabasumba w’Essaza ekkulu erya Kampala Paul Ssemogerere n’abalala ku Lwomukaaga yategeezezza nti okuva nga March 15, lwe baatuuka e Roma basisinkanye abakulu ab’enjawulo mu Eklezia okuli n’omutukuvu Paapa Leo XIV gwe basisinkanye ku Lwomukaaga. Yagambye nti mu nsisinkano yaabwe ne Paapa bamwanjulidde alipoota ekwata ku bigenda mu maaso mu Eklezia mu mssaza ag’enjawulo mu Uganda ssaako n’alipoota z’ebitongole by’Eklezia eby’enjawulo.
Ensisinkano eno yeetabiddwamu abasumba 17 ku 19 abakulembera amasaza ag’enjawulo ng’abatabaddeyo kuliko Omusumba w’Essaza ly’e Lugazi, Christopher Kakooza ssaako omusumba w’Essaza lye Jinja eyafa omwaka oguwedde nga lino mu kiseera kino lirabirirwa Ssaabasumba Obbo.
Omusumba Zziwa yagambye nti beeyamye okugenda mu maaso nga batambulira wamu n’Omutukuvu Paapa wansi w’okulungamizibwa kwe. Abasumba mu kulambula Bannayuganda ab’enjawulo e Roma okuli bannaddiini abali ku misomo n’omubaka wa Uganda e Roma, baabakubirizza okwongera okuwanika ekifaananyi kya Uganda n’Eklezia ate n’okujjukira okudda mu Uganda okukozesa obukugu bwe bafunye okuzimba Eklezia n’eggwanga lyonna.
Yeebazizza Bannayuganda abakulembeddwamu Rev. Fr. Alex Sseremba olw’okubaaniriza obulungi ku bugenyi buno era nebabakubiriza okusigala nga bali bumu n’Eklezia mu Uganda. Mu nsisinkano ne Paapa Leo XIV, ku Lwomukaaga, abasumba bano nga bakulembeddwamu omusumba Zziwa batonedde Paapa ekirabo naye n’abasabira omukisa ogw’enjawulo.
Okusinziira ku ntereeza y’Eklezia buli luvannyuma lwa myaka etaano, abasumba b’Eklezia mu nsi yonna basisinkana Paaa ne bakubaganya ebirowoozo ku ntambula y’emirimu n’okumwanjulira bye babeera bateekateeka okukola mu myaka etaano egiddako.