Amawulire

Mbega wa CMI abadde yatoloka ku mulimu okumala emyaka 10 yeekwasizza kabenje

OFIISA wa CMI gwe baakubira essimu okufuna ebivudde mu ndaga buttoned (DNA) n’atadda ku mulimu okumala 10 bamukutte.

Mbega wa CMI abadde yatoloka ku mulimu okumala emyaka 10 yeekwasizza kabenje
By: Margaret Zalwango, Journalist @New Vision

OFIISA wa CMI gwe baakubira essimu okufuna ebivudde mu ndaga buttoned (DNA) n’atadda ku mulimu okumala 10 bamukutte.

 Sgt Tito Agaba 52, wa magye ga UPDF wansi w’ekitebe ky’abambega ekya CMI e Mbuya nga mutuuze w’e Bulenga abadde mu kkooti ya magye n’ategeeza abakulu nti yali aganze kufuna byava mu DNA n’afuna akabenje kye yava atadda ku mirimu.

 

Agaba bino yabyogedde ng’awakanya eby’oludda oluwaabi olwabadde lugamba nti yasuulawo emirimu mu bugenderevu n’adduka.

Oludda oluwaabi lugamba nti Agaba yasuulawo emirimu era omwaka oguwedde yakubira abakuumaddembe essimu nti waliwo ababbi abemmundu abaali balumbye abantu mu bitundu by’omu mambuka kyokka batuukawo ng’abadde alimba.

Abakuumaddembe bwe batuuka ku kifo nga Agaba abadde alimba ne bamukwata era mu kumusoya ebibuuzo ne bazuula nti yali wa magye n’adduka ku mirimu.

Ssentebe wa kkooti Brig Gen Freemam Mugabe yalagidde azzibwe mu kkomera okutuusa nga January 30, 2024 okuweebwa ekibonerezo.

Tags:
Amawulire
CMI
Mbega
Magye