Amawulire

BUKEDDE W'OLWOKUBIRI AKULEETEDDE BINO BY’OTOSAANA KUSUBWA

Mulimu ebitutte Bobi Wine akulembera NUP ku malaalo ga Paulo Kafeero.

BUKEDDE W'OLWOKUBIRI AKULEETEDDE BINO BY’OTOSAANA KUSUBWA
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Mulimu ebitutte Bobi Wine akulembera NUP ku malaalo ga Paulo Kafeero.

Tukulaze engeri eby’okulonda Omulabirizi w’e Luweero bwe biyisizza looya Makubuya.

Tosubwa ebizuuse ku mmaali y’Obusiraamu ewa Bakuli eyatundibwa Mufti Mubajje.

Tukuleetedde ebiyambye Donald Trump okwongera okunywera okwang’anga Biden mu kalulu ka America akaddako.

Mu Ssenga: Mulimu engeri omukazi gy’alinnyisa omutindo n’asumuluza omusajja waleti. Tukugattiddeko ensonga za Sandra n’omuzeeyi eyamuwaanye.

Mu Byemizannyo: Tukulaze engeri Liverpool bw’erinnyisizza ggiya ku kikopo kya Premier n’ereka Arsenal ne ManU kugikonga lusu.

Gano n'amalala mu Bukedde w'Olwokubiri agula 1,000/- zokka.