Amawulire

BUKEDDE WA WIIKENDI YAFULUMYE DDA NG’AJJUDDE BUGULE

Tukulaze enjaga empya egguse ng’eno bagiguza abaana b’amasomero mu byokulya so nga mu Akeedi baginywera mu caayi n’obusera.

BUKEDDE WA WIIKENDI YAFULUMYE DDA NG’AJJUDDE BUGULE
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Tukulaze enjaga empya egguse ng’eno bagiguza abaana b’amasomero mu byokulya so nga mu Akeedi baginywera mu caayi n’obusera.

Okusika omuguwa mu ba NUP kwongedde okusajjuka abamu ku bakulembeze b’ekibiina bwe basonze ku Chairman Nyanzi okubeera mu lukwe lw’okusaanyaawo omubaka Matthias Mpuuga.

Tukuleetedde  ebikwata ku mmeeri y’Abadigize esinga obunene mu nsi yonna. Eno yenkana Akeedi z’omu Kampala 10.

Mulimu engeri eddwaaliro ly’e Mulago gye lyameggeddwa ogwa bbebi eyabulirayo kkooti n’eragira okuliyirira abazadde obukadde 50 .

Mu Taasa Obulamu n’eddagala lyaffe tukulaga enniimu bw’ekutaasa okulwala kookolo. Tukugattiddeko ne ovakkedo bw’ayamba omusajja okusamba 90.

Mu Byemizannyo: Tukulaze bassita abasalawo ku gwa Arsenal eri mu kyokusatu ne Liverpool eri waggulu ku kimeeza kya Premier.

Gano n'amalala mu Bukedde wa Wiikendi agula 1,000/- zokka.