Amawulire

Ab'e Mutungo batwalidde amateeka mu ngalo ne bakuba agambibwa okubeera omubbi ne bamutta

Abatuuze ba Mutungo  Zooni 2 mu Munisipaali y'e Nakawa bazingizza musajja mu kiro ekikeesezza olw’okutaano ne bamukuba ne bamuttirawo n’omulambo gwe ne gusuulibwa mu mwala okumpi n’ekkubo nga bamuteebereza okubeera mu kibinja ky’abantu abatigomya ekitundu...

Mukasa eyattiddwa nga bwabadde afaanana
By: Huzaima Kaweesa, Journalists @New Vision

Abatuuze ba Mutungo  Zooni 2 mu Munisipaali y'e Nakawa bazingizza musajja mu kiro ekikeesezza olw’okutaano ne bamukuba ne bamuttirawo n’omulambo gwe ne gusuulibwa mu mwala okumpi n’ekkubo nga bamuteebereza okubeera mu kibinja ky’abantu abatigomya ekitundu.

Abatuuze mu kitundu kino nga bakulembeddwamu ssentebe waabwe Adam Kibuuka bategeezezza nga omuntu attiddwa bw’abadde amanyiddwako erinnya limu erya Mukasa nga abadde amanyiddwa nnyo mu kwenyigira mu muze gw’obubbi n’okutigomya abantu ku kitundu.

Abamu ku batuuze abalinaanye ekifo Mukasa weyattiddwa bategeezezza nga bwebateebereza okuba nga ono yattiddwa ku ssaawa nga 11 nga obudde bukya kubanga baawulidde enswagiro kyokka nebatamanya kiki kyabaddewo nga kibabuuseeko okukeera nga balaba mulambo.

Kyokka abamu ku batuuze bategeezezza nga ono bwebamuzingizza oluvannyma lw’okumukwata lubona nga aliko ekikomera kyeyabuuse n’agwa munda olwo n’atandika okusumulula amataala g’emu ku mmotoka  ezaasangiddwa munda nga wano webaamugobedde nebamukwata nebamukuba okutuusa okumutta.

Poliisi ng'eggyawo omulambo

Poliisi ng'eggyawo omulambo

Andrew Muwanga omu ku baasoose okutuuka mu kifo kino ategeezezza nga bwewaliwo omutuuze abadde akedde okugenda ku mirimu gye ku ssaawa nga 12 nga bukya nga ono y’amukubidde essimu nti aliko omulambo gw’asanze ku kkubo naye kwekutuuka mu kifo kino n’asanga nga ddala kituufu omuntu yattiddwa.

Oluvannyuma yategeezezza abakulembeze ku kitundu wamu ne poliisi abakungaanye okujja okulaba ogubadde.

Kyokka oluvannyuma lw’okwetegeereza omulambo guno bategeezezza nga omuntu ono bwebabadde bamulaba ku kitundu nga n’olumu yakwatibwako mu bubbi era n’aggalirwa ku poliisi e Mutungo.

Kyokka ono ategezezza nga ekitundu bwekiyitiriddemu obunkenke nga ne mu wiiki nga bbiri emabega waliwo abantu bebaayingirira mu mayumba gaabwe.

Muhammad Ssempijja kansala w’ekitundu kino, ekizibu akitadde ku by’okwerinda ebiragayiza mu kitundu nga ekiseera kino basusse okuteega abantu nga babakuba n’okubanyaga.

Awanjagidde ab’ebyokwerinda okutukiza okulawuna kubanga abavubuka basusse okwagala eby’obwereere n’obutayagala kukola.

Ssentebe w’ekitundu kino Adam Kibuuka ategezezza nga bwebakooye okutulugunyizibwa ku kitundu kino nga obuzibu buva ku bantu abatayagala kukola.

Abatuuze nga bali webattidde omuntu

Abatuuze nga bali webattidde omuntu

Eyaliko omubaka wa palammenti mu kitundu kino Micheal Kabaziguruka atuuseeko mu kifo webattidde Mukasa n’akakasa nga Mukasa attiddwa bw’abadde omubbi ow’olulango nga n’engoye zennyini zebamuttiddemu zeyarimu lweyakwatibwa.

Kabaziguruka asabye abatuuze okukolagana obulungi n’abakulembeze kw’ossa n’ebitongole ebikuuma ddembe naddala nga babategeeze ku bantu abenyigira mu bumanyi bw’amateeka.

Oluvannyuma abasirikale okuva ku Poliisi ya Jinja Road bazze ne bekebejja omulambo n'oluvannyuma ne guggyibwawo ne gutwalibwa mu ggwanika ly'eddwaliro e Mulago nga okunoonyereza bwekugenda mu maaso.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Luke Owoyesigyire ategezezza nga omuntu ono bw’atateegerekese nnyo bimukwatako nga kiteeberezebwa okuba nga yakwatiddwa mu bumenyi bw’amateeka n’akubibwa n’attibwa.

Ategezezza nga okunoonyereza bwekikyagenda mu maaso okuzuulira ddala ekituufu ekyabaddewo.

Kyokka asabye abatuuze bulijjo okukomya okutwalira amateeka mu ngalo n’asuubiza nga bwebagenda okuttukiza okukola ebikwekweto okufuuza abantu abo.