Olutalo lwa NUP e Masaka: Aba Mpuuga batabuse n’aba Chairman Nyanzi

Feb 04, 2024

OKUSIKA omuguwa mu kibiina kya NUP e Masaka kwongedde okusajjuka, abamu ku bakulem­beze b’ekibiina bwe basonze ku Chairman Nyanzi n’ekibinja kye ekya Kunga okuba n’olukwe lw’okusaanyaawo Matthias Mpuuga.

NewVision Reporter
@NewVision

Bya Hanipher Namuwonge ne Lawrence Kizito

OKUSIKA omuguwa mu kibiina kya NUP e Masaka kwongedde okusajjuka, abamu ku bakulem­beze b’ekibiina bwe basonze ku Chairman Nyanzi n’ekibinja kye ekya Kunga okuba n’olukwe lw’okusaanyaawo Matthias Mpuuga.

Ebiwayi ebisika omuguwa e Masaka kuliko ekya Mmeeya Flor­ence Namayanja, n’abakulembeze ba Kunga, ekya kkansala wa Nyendo - Mukungwe ku lukiiko lw’ekibuga, Alice Nanungi ala­muza ekifo kya Mpuuga, kwossa n’ekiwayi kya Mpuuga, ekirimu omubaka Abed Bwanika (Kimaan­ya – Kabonera), ne Juliet Kakande (mukazi/Masaka City).

Enteekateeka ya Kunga ereese akanyamberege e Masaka, yava mu ofiisi ya Ssaabakunzi wa NUP, Fred Nyanzi Ssentamu, n’ekigendererwa eky’okusakira ekibiina abawagizi abapya. Wab­ula ensonda mu bukulembeze bwa NUP e Masaka zigamba nti aba Kunga bakozesebwa abamu ku bakulu mu kibiina abatuula ku kitebe e Makerere - Kavule, abaagala okumenya Mpuuga ebi­wawaatiro, nga batya nti yandye­simba ku ‘Bobi Wine’ mu kibiina.

LWAKI KUNGA YAWEREDDWA E MASAKA

Wakati mu kusika omuguwa okugenda mu maaso e Ma­saka, Mpuuga yatuuzizza olukiiko lw’abakulembeze ba NUP ku Ever Green Hotel mu kibuga Ma­saka, okuva ku miruka ppaka ku lukiiko olwa waggulu, ne basalawo okuyimiriza emirimu gya Kunga e Masaka nga bagamba nti yava ku mulamwa.

Abakulembeze bagamba nti NUP ejjudde mu Masaka era abantu baagikkiriza nga Nyanzi tamaze kutwalayo Kunga, nga kuba kutabula na kwonoona biseera ate okufuna abantu abapya nti bakunge abantu beegatte ku NUP. Abakulembeze ba Kunga e Ma­saka nabo bammemba b’ekibiina bagamba nti tebamanyikiddwa gye bava, nga balinga bamasinale abaaleetebwa okubaako misoni gye baggusa.

Era balumiriza aba Kunga okutambulanga mu bantu nga boogerera abakulembeze aba­liko amafuukuule n’okubavuma, nga bagezaako okuyisaawo bo be bawagira.

Omuwandiisi wa NUP mu Ma­saka City, Joseph Kasirye, agamba nti bamaze ebbanga nga bafuna okwemulugunya okuva mu ba­kulembeze ku nkola y’emirimu eya bakakuyege ba Kunga be balumi­riza okubapeekanga ensimbi era ng’oyo atazibawa bamuvumirira mu kitundu ssaako okumutii­satiisa nga bw’atagenda kuddamu kuweebwa kaadi ya kibiina mu kulonda okuddako.

Chairman Nyanzi

Chairman Nyanzi

Ensonga endala gye beesi­gamako, be bakulembeze ba Kunga e Masaka nga ne Namayanja mwali, okutandika okutambula n’abantu abaagala okwesimba ku bakulembeze ababaddewo. Eky’okulabirako, Namayanja ng’ali wamu n’abakulembeze ba Kunga tebaggwa ku mikolo gya Gyaviira Ssebina Lubowa ayagala okwes­imba ku Mpuuga.

Era be bantu be bamu, abatem­beeta Patrick Kuteesa, ayagala okwesimba ku Abed Bwanika mu Kimaanya – Kabonera. Wano aba­kulembeze ba NUP abakkiririza mu Mpuuga, we bava ne bagamba nti enteekateeka ya Kunga yaleeteb­wa e Masaka n’ekigendererwa ky’okukuba Mpuuga, n’ababaka abamukkiririzaamu, kubanga mu kifo ky’okutwala Kunga mu bitundu NUP gyetali, ate basinze kugitwala Masaka, mu bitundu ebyanunulwa edda aba NUP.

OLUTALO NE NAMAYANJA

Mmeeya Namayanja mu kiseera kino talinnya mu kimu n’omubaka Dr. Abed Bwanika ng’entabwe eva ku Bwanika okuwalabulanga Namayanja ng’amulumiriza okwe­nyigira mu mivuyo gy’okunyakula eby’obugagga by’ekibuga Masaka.

Era Namayanja bamuvunaana olw’okukuuma ekibiina kya NUP nga kyebase, olw’obutatuuza nkiiko za kibiina n’okusalawo ensonga ezikwata ku kibiina nga teyeebuuzizza ku bakulembeze banne. Juliet Kakande naye yat­abuka ne Namayanja ng’entambwe eva ku kibangirizi kya Children’s Park, ekigambibwa nti Namayanja wadde si ye yatunda ekifo kino, naye ate yali awolereza eyakig­ula ate nga yakigula mu ngeri ya kifere.

Waliwo n’ebigambibwa nti abakulembeze ba NUP abamu ku kitebe, baatandise okuluka misoni ey’okugoba Mpuuga ku kifo kya ssentebe wa NUP mu Buganda, nga baagala okumusikiza Namayanja, abantu b’e Masaka baleme kunyi­iga nnyo. Mu lukiiko Mpuuga lwe yatuuzizza, abakulembeze ba NUP, baabadde basembye Namayanja agobwe ku kifo kya ssentebe wa NUP e Masaka, olw’emivuyo gy’okwetaba n’aba Kunga, kyokka Mpuuga n’akigaana ng’agamba nti si ke kaabadde akadde akatuufu okugoba abakulembeze wakati mu busungu.

ABA KUNGA BAJEEMEDDE ABAKULEMBEZE

Abakulembeze ba Kunga e Masaka nga bakulembeddwaamu ssentebe waabwe, Muhammad Bukenya amanyiddwa nga Katugga, baweze nga bwe batagenda kugondera byasaliddwaawo bukulembeze bwa NUP e Masaka kubanga teba­balinaako buyinza.

Katugga agamba nti obuku­lembeze bwe bwava mu ofiisi ya Nyanzi era ye yekka asobola okumuyimiriza ku mulimu gwe yamukwasa, ogw’okulaba ng’ebifo ebitono NRM bye yawangula e Masaka, ekibiina kibyezza. Ebyasaliddwaawo ba Mpuuga agamba tebimukwatako!

Ye Fred Nyanzi Ssentamu yawakanyizza ebyogerwa nti Kunga yagitandika kulwanyisa ba­kulembeze n’agamba nti omulimu gwabwe omukulu gwa kuleeta bammemba abapya mu kibiina, nga bayita mu kubakunga.

Yagambye nti waakuwaayo obudde okunnyonnyola aba­kulembeze ku nteekateeka eno.

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});