ENTUNTUNU eyitibwa ‘African gooseberry’ mu Lungereza ate era ye ‘Physalis Peruviana’ mu lulimi olwa ssaayansi nga n’ababeera e South Africa batera kugiyita ‘Cape berries’ kubanga Abazungu balowooza ky’ava eyo.
Dr. Joseph Mawula, owa Novel Bio tech Kampala annyonnyola nti, kibala ekitera okwemeza kyokka nga kibeerako ebikoola bya langi nga ey’omucungwa eya kiragala naye kyo kitono nnyo mu ndabika ate akati kaakyo tekawanvuwa nnyo.
Ekibala kino tekitera kuwooma nga bw’onoolaba omuyembe oba kukaawa nga omucungwa, wabula kirimu ka ssukaali katono n’akannyo katono nga mu ngeri ennyangu oyinza okugamba nti, kituhhununa.
Entuntunu eno erimu emigaso ntoko okuva ku bikoola byazo n’ebibala, naye omuntu
yandisaanye okufaayo ng’azirya n’ateegeera ebirungo ebizirimu, emigaso gyazo n’obungi bw’alinaokulya obutazisussa.
Zirimu ekirungo ekireeta alaje era zisaana kuliibwa nga zengedde oba ebikoola byazo naddala nga ozikazizza awatali kasana n’ozisekula n’oggyamu ensaano. Engeri gye zitaliimu ssukaali mungi, zino n’owa ssukaali asobola okuzirya era ne zimuyamba,
zirimu calcium nga ono ayamba ku kwongera amaanyi agalwanyisa endwadde mu mubiri.
Ate era n’ebiwuziwuzi ebizirimu biyamba ku kutereeza ekyenda omuntu n’alema okwesiba olubuto.
EMIGASO GY’ENTUNTUNU
1 Mulimu Vitamiini C: Ebimu ku bimera ebikyasinze okubeeramu Vitamiini C okusinga n’enniimuy’entuntunu. Vitamiini C si mulungi ku lususu lwokka, wabula ayamba okwongera amaanyi omubiri okusobola okulwanyisa endwadde.
Esobola okutuukiriza ebitundu 18 ku 100 ku bungi bwa Vitamiini C omubiri gwe gwetaaga okulwanyisa endwadde nga kye kibatu kimu eky’ekibala oba ebikoola. 2Nnungi ku maaso: Erimu Vitamiini A ebitundu 14 ku 100 ate nga eno emanyiddwa mu kwongeza ku kulaba kw’amaaso, era n’ekirungo kya iron nakyo nga kiyamba ku kukola kw’amaaso olw’obukulu bwakyo ku nkola y’omusaayi.
3 Okujjanjaba obulwadde bwa puleesa: Erimu ebirungo ebiyamba okuggya amasavu agateetaagibwa mu mubiri ne mumisuwa ebyandibadde birinnyisa puleesa. Erimu n’ekirungo ekiyamba okuggya obutwa mu mubiri.
4 Egumya amagumba: Erimu ekirungo kya calcium ne phosphorous mu bungi ate nga bino by’ebikyasinze okugumya amagumba, era n’ekirungo ekikyasinze okuyingiza ebirungo bino mu mubiri
5 Eyamba mu kusala omugejjo:
Olwokuba erimu amasavumatono ne ssukaali mutono bw’olya olubatu lumu
olw’entuntunu eyengedde oba n’ogiteeka mu saladi, oba ensaano yaayo mu mazzi eyamba okusala amasavu agaleeta omugejjo
6 Eyamba mu kusa emmere mu lubuto olw’okuba n’ebiwuziwuzi.
7 Okuggyawo okuzimba/ obuzimbu bw’omubiri, okumyuukirira n’obulumi. 8 Olwa Vitamiini C ezirimu, erwanyisa ssennyiga n’ekifuba.
9 Ekuuma obwongo nga bukola bulungi : Endwadde ezisinga ezirumba obwongo ziva ku kusukka kw’ekirungo kya iron mu bwongo kuba akola obutwa obukosa obutoffaali bw’obwongo. Entuntunu eyamba okukendeeza iron ono olwa asidi alimu.
10 Erwanyisa kookolo: Erimu ebirungo ebikendeeza obutwa mu mubiri n’okwekwata kw’omusaayi ate nga by’ebisinga okuvaako endwadde ya kookolo. Erimu n’ekirungo ekiremesa okukula kw’obutoffaali bwa kookolo.
11 Ekuza enviiri : Entuntunu y’emu ku bibala ebiyamba okukuza enviiri, okwata ensaano n’oteeka mu woyiro w’ennazi n’osiiga mu nviiri zo ekiyamba emitunsi gy’enviiri okukula ate nga migumu n’enviiri okuwanvuwa.
Ono woyiro ayamba n’okugoba situka ku lususu n’okugoba envi.
12 Enyiriza olususu: Entuntunu eyamba okusengejja omusaayi ne kiyamba okujja obutwa mu mubiri olwo olususu ne lulabika bulungi nga lunyirira. Ensaano yaayo erwanyisa alaje w’olususu