Embeera ya Ssegirinya etandise okuwa essuubi
Feb 12, 2024
EMBEERA y’omubaka Mohammad Ssegirinya etandise okuwa essuubi bw’aggyiddwa mu kasenge k’abayi mu ddwaaliro lya Aga Khan e Kenya n’assibwa mu kifo abafamire ne mikwano gye we basobola okumulabira.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision
Bya Hannington Nkalubo
EMBEERA y’omubaka Mohammad Ssegirinya etandise okuwa essuubi bw’aggyiddwa mu kasenge k’abayi mu ddwaaliro lya Aga Khan e Kenya n’assibwa mu kifo abafamire ne mikwano gye we basobola okumulabira.
Ssegirinya (Kawempe North) amaze wiiki nnamba ng’ali mu kasenge k’abayi era ng’ayambibwako byuma okussa. Abasawo babadde tebakkiriza bantu kumulaba olw’embeera embi gy’abaddemu ng’obulwadde bumuluma.
Omubaka omukazi owa Kampala, Shamim Malende y’omu ku baasoose okutuuka ku Ssegirinya nga yaakava mu ICU era yategeezezza nti embeera ye tennaba kuba nnungi nnyo naye ewa essuubi.
Justine Nakajumba, maama wa Ssegirinya, yategeezezza nti embeera ya mutabani we ekyayungula ezziga kubanga akkozze nnyo, mupeeruufu yenna era alina obulumi kyokka akyali mugumu nti mutabani we ajja kumegga ekirwadde kino.
Ssegirinya obulwadde bumaze ebbanga nga bumuluma. Bwamweyongera bwe yali mu kkomera ne bamutwala mu ddwaaliro ate ne bwe yavaayo era ne bugenda mu maaso nga bumuluma.
Olumu yagenda ku KCCA okwetaba mu lukiiko kyokka banne ne bamwewuunya ku ngeri obulwadde gye bwali bumulumye ennyo era ne bamuwabula okugenda amangu mu ddwaaliro abasawo bongere okumuyamba.
Yatwalibwa mu ddwaaliro e Nsambya abasawo gye baamukeberera ne bazuula ng’atawaanyizibwa obulwadde obwakwata ebitundu bye eby’omunda era nga yeetaaga kutwalibwa bweru wa ggwanga.
Guno mulundi gwakubiri ng’atwalibwa ebweru w’eggwanga okumujjanjaba.
No Comment