Bya Ponsiano Nsimbi
ABAFFAMIRE ya Haji Musa Katongole eyali owa UTODA bongedde okweyuza ng’entabwe eva ku ngabana y’ettaka erya yiika ezisoba bbiri erisangibwa mu zooni ya Industrial Area e Makerere awamanyiddwa ng’ewa Kisekka.

Mwannyina Wa Katongole Ku Kkooti.
Wakati mu kwekandagga nga bafuluma kkooti e Makindye, bannyina ba Katongole abaabaddewo baategeezezza nga bwe bategenda kuleka mmaali ya mwannyinaabwe n’abaana baabwe kutwalibwa era baalumirizza omu ku bannamwandu okwagala okwekomya yekka ebintu bya Katongole.
Omulangira Nakibinge baamuwawaabira n’abantu abalala basatu okuli Haji Haruna Kalule Kibirige, Hajji Muhamood Katongole, Abubaker Kaweesi ne batwaliramu ne ofiisi ya Supreme Mufti wa Uganda.
Omusango guno nnamba 405/2022, abaana baaguwaabye mu kkooti etaawulula ensonga z’amaka e Makindye, ng’entabwe yavudde ku kye baayise kyekubiira, okunyigirizibwa n’okusosolebwa mu ngaba y’emmaali ya kitaabwe.
Ettaka erikaayanirwa liriko abasenze n’ekifo we booleza mmotoka kyokka ssentebe w’ekitundu kino era kkansala akiikirira omuluka gwa Kagugube, Kassim Lubowa Musisi yategeezezza nti omwaka oguwedde abaffamiire ya Katongole baamutuukirira mu butongole nga bamutegeeza nga bwe balina enteekateeka z’okukulaakulanya ettaka lyabwe.
Agamba nti bano baamutegeeza nga bwe bagenda okuliyirira abantu bonna abali ku ttaka lino era enteekateeka eno egenda mu maaso nga waliwo n’ennyumba ezaamenyebwa oluvannyuma lw’okusasula bannyini zo.
Haji Katongole ye yali ssentebe wa UTODA mu Uganda. Yafa March 31, 2021 n’aleka emmaali evuluuja mu Kampala, Wakiso, Kayunga n’ebitundu ebirala.
Katongole yaleka abaana abawera ne bannamwandu basatu kyokka abaana munaana okuli; Aisha Nakyanzi Katongole, Muhamood Katongole Jr, Hanifa Nassaazi Katongole, Halima Namugenyi, Maimuna Namisango, Hadijja Nabaweesi, Mariam Namaganda ne Joweria Nabakooza nga bayita mu bannamateeka ba Tumukunde & Co.Advocates baddukira mu kkooti ekola ku nsonga z’amaka.
Okusinziira ku biwandiiko ebiri mu kkooti e Makindye, Bukedde bye yafunyeko kkoppi, omusango gwateekebwayo September 23, 2022 era abawawaabirwa okuli n’Omulangira Nakibinge baaweebwa wiiki bbiri okuteekayo okwewoozako kwabwe.
Bano nga bayita mu bannamateeka baabwe aba Bakidde & Hannan Advocates baateekayo okwewozaako kwabwe.
Okusinziira ku kiraamo kya Katongole, ebyobugagga bye byalina okugabibwa nga bagoberera enkola y’Obusiraamu eya Sharia.