Bya Basasi Baffe
ENKOLAGANA y’omuyimbi Eddy Kenzo Musuuza n’omubaka omuto, omubalagavu atiba ng’ennyana, Phiona Nyamutooro ebuzaabuza.
Omubaka ono nga y’akiikirira abavubuka mu Palamenti, bw’ayogera osigala okyayagala era n’endabika ye erya ppate era ye kennyini aba ng’ekyokulya.
Omubaka ono era yaakakubawo eddenzi. Kwe kugamba w’osomera bino ng’awunya mata.
Kenzo bwe yabadde ayogera ne munnamawulire wa CNN, Larry Madowo ku pulogulaamu ya African Voices - Change makers, yagambye nti musajja mufumbo era alina abaana.
Alina omwana omuwala, Aamal Musuuza, gwe yazaala mu Rema Namakula eyali mukyala we ne baawukana mu 2019 ne yeefunira (Rema) Hamza Ssebunnya, gwe yayanjula ku mukolo ogwayuuguumya eggwanga.
Alina n’omulala Maya Musuuza gwe yasooka okuzaala mu mukyala gwe yasooka okusisinkana.
Nyamutooro ava mu bitundu by’e Nebbi kyokka bazadde be balina amaka e Bugema mu Luweero okuliraana yunivasite.
Bwe yali ayogera ne ttivvi ya Galaxy gye buvuddeko, Nyamutooro yeegaana eby’okubeera n’enkolagana ey’enjawulo ne Kenzo kyokka yagamba nti yali aludde ng’amumanyi ne bwe yali (Nyamutooro) tannafuuka mubaka.
Baliraanwa ba bazadde b’omubaka Nyamutooro baategeezezza Bukedde nti, e Bugema waabaddewo omukolo abatuuze gwe baagambye nti gwabadde gwefaanaanyiriza ogw’okukyala kyokka tebaategedde kukyala kw’ani okwo okwabaddeko abantu abatono ddala nga n’okusinga baamunnyumba.
Kenzo bwe yatuukiriddwa ku nkolagana ye n’omubaka Nyamutooro yagambye nti, “Ebyo bye muhhamba sibimanyi.”
Ye Nyamutooro yabadde takwata masimu ge kyokka mu Palamenti baategeezezza nti ali mu luwummula