Batongozza SACCO y'abaaguzannyako

SSAABALABIRIZI w'Ekkanisa ya Uganda, Dr. Stephen Kazimba Mugalu asabye Gavumenti okuyamba abaazannya ku mupiira ng'ebawa ssente batandikewo pulojekiti n'emirimu.

Daniel Muwaguzi (ku ddyo) owa FFI ng'alwana okuggya omupiira ku muyimbi Eddy Kenzo eyazannyidde mu ttiimu ya Palamenti. FFI yakubiddwa (3-1) e Bukesa.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

SSAABALABIRIZI w'Ekkanisa ya Uganda, Dr. Stephen Kazimba Mugalu asabye Gavumenti okuyamba abaazannya ku mupiira ng'ebawa ssente batandikewo pulojekiti n'emirimu.
Yabyogedde ku Lwamukaaga mu kusaba kwe yakulembedde mu St. John's Chapel e Mengo nga bammemba b'ekibiina ekigatta abaazannya ku mupiira (Former Footballers Initiative, FFI) tekinnatongoza SACCO yaakyo.
Ssaabalabirizi yawadde FFI ssente (1,000,000/-) n'asaba Ekkanisa ne Gavumenti okuwagira n'okudduukirira abaaguzannyako kuba baakola kinene okutunda Uganda munsi yonna.
Yasabiide ne ffamire z'abawagizi, abasambi n’abaddukanya omupiira abaafa.
Mukyala wa Pulezidenti era minisita w'Ebyenjigiriza n'Emizannyo, Janet Museveni ye yabadde omugenyi omukulu nga yakiikiriddwa minisita wa Kampala, Hajati Minsa Kabanda. Ono yagambye nti kya nnaku okuba ng’abaagusambako bangi bali mu bulamu obubi n'alaga essuubi mu SACCO nti yaakubayamba okumanyagana n’okwekulaakulanya.
Muky. Museveni yasuubizza obukadde 30 eri SACCO ate Hajati Kabanda ne yeeyama
okwongerako 3,000,000/- sso nga minisita w'Ebyenguudo era omuyima wa FFI, Gen. Edward Katumba Wamala yawaddeyo 2,700,000/- mu mpeke. Yagambye
nti FFI tekyajja kulwanyisa FUFA wabula okukwatagana nayo nga badduukirira aboomupiira abali mu mbeera embi. FFI kikulirwa Isaac Mubarak Ngobya.  Ku mukolo guno, kkampuni ya  Vision Group, efulumya Bukedde yatadde 7,000,000/- mu
SACCO eno. Akulira ebyensimbi mu Vision Group, Pasita Augustine Tamale yagambye nti FFI yabatuukirira n'ebabuulira ebizibu kwe kusalawo okugiyambako ng'eyita mu mikutu gyabwe gyonna egy'empapula z'amawulire, leediyo ne ttivvi.
"Akulira kkampuni yaffe, Don Wanyama awaddeyo 5,000,000/- nange nga omuntu
nnyongeddeko 2,000,000/-," Pasit  Tamale bwe yategeezezza.
Pulezidenti wa FUFA, Ying. Moses Magogo yatuuse kikereezi kyokka nga yatisse omukungu  we, Samuel Mpiima 2,000,000/- naye (Mpiima) n'asuubiza okwongerako 1,000,000/-, omubaka Asuman Basalirwa (1,000,000/-), hedimansita wa Mengo SS, Grace Nantagya (2,500,000/-) n'abalala. Omukolo gwavuddemu obukadde 50 (50,070,000/-) era ssentebe wa FFI, Isaac Ngobya n'asaba minisita Kabanda okubafunira
ettaka we basobola okuzimba ekitebe ky'abaaguzannyakone mmotoka ewewule ku ntambula
yaabwe. Oluvannyuma, ttiimu y'ababaka ba Palamenti yakubye eya FFI ggoolo 3-1 ku kisaawe kya Mengo SS e Bukesa.